Bible App logo
Search Icon

Eseza 2

2
Eseza afuuka Nnaabagereka
1Awo oluvannyuma lw'ebyo, obusungu bwa kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, n'alyoka ajjukira Vasuti n'ekyo kye yakola, n'ekyo ekyali kimulangiriddwako. 2Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti, “Banoonyeze kabaka abawala abato abalungi abatamanyi musajja.#1 Bassek 1:2 3Era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋŋaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, bakwasibwe Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okwerongoosa bibaweebwe. 4Awo omuwala kabaka gw'alisiima abe Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka; era n'akola bw'atyo.
5Waaliwo Omuyudaaya mu Susani mu lubiri, erinnya lye Moluddekaayi mutabani wa Yayiri, Yayiri mutabani wa Simeeyi, Simeeyi mutabani wa Kiisi Omubenyamini;#1 Sam 9:1 6eyaggibwa mu Yerusaalemi wamu n'abasibe abaatwalirwa awamu ne Yekoniya kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni gwe yatwala.#2 Bassek 24:14,15, Yer 24:1; 29:1,2 7Moluddekaayi yalera Kadassa, era ayitibwa Eseza muwala wa kitaawe omuto, kubanga teyalina kitaawe newakubadde nnyina, era omuwala oyo yali mulungi nnyo; awo nnyina ne kitaawe bwe baafa, Moluddekaayi n'amutwala okuba omwana we ye. 8Awo olwatuuka ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byawulirwa, n'abawala bangi nga bakuŋŋaanidde e Susani mu lubiri ne baakwasibwa Kegayi, awo Eseza naye n'atwalibwa mu nnyumba ya kabaka nnaakwasibwa Kegayi omukuumi w'abakazi. 9Awo omuwala oyo n'amusanyusa, n'afuna ekisa gyali; n'amuyisa bulungi; n'ayanguwa okumuwa ebintu bye eby'okwerongoosa wamu n'emigabo gye n'abawala omusanvu baagwanira okuweebwa nga baggibwa mu nnyumba ya kabaka, n'amujjulula ye n'abawala be n'abayingiza mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba ey'abakazi. 10Eseza yali tategeezanga abantu be bwe baali newakubadde ekika kye, kubanga Moluddekaayi yali amukuutidde obutakyogera. 11Era Moluddekaayi n'ayitanga buli lunaku mu maaso g'oluggya lw'ennyumba ey'abakazi, okumanya Eseza bw'ali, era n'ebimukwatako. 12Awo oluwalo olwa buli muwala bwe lwatuuka okuyingira eri kabaka Akaswero, ng'amaze okukolerwa ebyetaagisa ng'etteeka ery'abakazi bwe liri emyezi kkumi n'ebiri (12), kubanga ennaku ez'okulongoosa kwabwe bwe zaali bwe zityo, emyezi mukaaga baasimulwanga amafuta ag'omugavu, n'emyezi mukaaga eby'akaloosa n'ebintu ebirala eby'okulongoosa abakazi. 13Kale bw'atyo omuwala bwe yagendanga eri kabaka, kyonna kye yayagalanga y'akiweebwanga okugenda nakyo ng'ava mu nnyumba ey'abakazi ng'agenda mu nnyumba ya kabaka. 14Yagendanga akawungeezi n'akomawo enkya mu nnyumba ey'abakazi eyokubiri nnaakwasibwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana; teyaddangayo nate eri kabaka, wabula nga kabaka amusanyukidde, era ng'ayitiddwa n'erinnya.#Es 4:11 15Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto, gwe yali atwalanga omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyaliiko kye yeetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi, bye yalagira. Eseza n'aganja mu maaso g'abo bonna abaamutunuulira. 16Awo Eseza n'atwalibwa eri kabaka Akaswero mu nnyumba ye eya kabaka mu mwezi ogw'ekkumi, gwe mwezi Tebesi mu mwaka ogw'omusanvu ogw'okufuga kwe. 17Awo kabaka n'ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n'alaba ekisa n'okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna, n'okuteeka n'ateeka engule ey'obwakabaka ku mutwe gwe n'amufuula Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.#Es 1:11 18Awo kabaka n'alyoka afumbira abakungu be bonna n'abaddu be embaga enkulu, embaga ya Eseza; n'awa amasaza okusonyiyiwa emisolo, n'agaba ebirabo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.
Moluddekaayi avumbula olukwe olw'okutemula kabaka
19Awo abawala bwe baali bakuŋŋaanye omulundi ogwokubiri, Moluddekaayi yali atudde mu mulyango gwa kabaka. 20Eseza yali tategeezanga ekika kye bwe kyali newakubadde abantu be; nga Moluddekaayi bwe yamukuutira; kubanga Eseza yaagondera ekiragiro kya Moluddekaayi nga bwe yakolanga bwe yali ng'akyamulera. 21Awo mu biro ebyo, Moluddekaayi ng'atudde mu mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga oluggi, ne basunguwala ne bagezaako okutemula kabaka Akaswero.#Es 1:10 22Awo ekigambo ekyo ne kimanyibwa Moluddekaayi n'akibuulira Eseza kaddulubaale; Eseza n'abuulira kabaka mu linnya lya Moluddekaayi.#Es 6:2 23Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabikanga kyali kituufu, bombi ne bawanikibwa ku muti. Awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky'ebibaawo ebikulu mu maaso ga kabaka.#Es 6:1

Currently Selected:

Eseza 2: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in