Bible App logo
Search Icon

Eseza 1

1
Obufuzi bwa kabaka Akaswero
(1:1—2:23)
Kabaka Akaswero ategekera abakungu be embaga
1Awo olwatuuka ku mirembe gya Akaswero, Akaswero oyo ye yali afuga obwakabaka okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127)#Ezer 4:6, Es 8:9; 9:30 2Awo ku mirembe egyo, kabaka Akaswero bwe yatuula ku ntebe y'obwakabaka bwe eyali mu lubiri lw'e olwali mu kibuga ekikulu Susani,#Nek 1:1 3mu mwaka ogwokusatu ogw'okufuga kwe n'afumbira embaga abakungu be bonna n'abaddu be; n'abakulu b'amaggye ag'e Buperusi n'e Bumeedi, abakungu n'abakulu b'amasaza nga bali mu maaso ge,#Lub 40:20, Es 2:18, Mak 6:21 4kabaka n'ayoleseza ennaku nnyingi obugagga obw'obwakabaka bwe n'ekitiibwa n'ettendo ery'obukulu bwe obutasingika, ennaku kikumi mu kinaana (180). 5Awo ennaku ezo bwe zaggwaako, kabaka n'afumbira embaga abantu bonna abaali awo mu lubiri lw'e Susani, abakulu n'abato, ennaku musanvu, mu luggya olwali mu maaso g'ennimiro z'olubiri lwa kabaka; 6waaliwo ebitimbiddwa eby'olugoye olweru n'olwa nnawandagala n'olwa kaniki, nga zisibiddwa n'emigwa egya bafuta ennungi n'olw'effulungu n'empeta eza ffeeza n'empagi ez'amayinja aganyirira, ebitanda byali bya zaabu ne ffeeza ku mayinja amaaliire aganyirira, amamyufu n'ameeru n'aga kyenvu n'amaddugavu. 7Eby'okunywa byagabulirwa mu binywerwamu ebya zaabu, ebinywerwamu ebyo byali byanjawulo nga tebifaanana, n'omwenge gwa kabaka gwali mungi nnyo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali. 8N'okunywa ne kuba ng'amateeka bwe gali; nga tewali ayinza okuwaliriza, kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo abaami bonna ab'omu nnyumba ye bakolenga buli muntu nga bw'ayagala. 9Ne Vasuti kaddulubaale#1:9 Kaddulubaale ekitiibwa ky'omukazi asooka owa kabaka. Era ayitibwa Nnaabagereka (ekitiibwa ekiweebwa mukyala wa kabaka). naye n'afumbira abakazi embaga mu nnyumba ya kabaka, Akaswero.
Nnabagereka Vasuti ajeemera kabaka
10Awo ku lunaku olw'omusanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyuka olw'omwenge, n'alagira Mekumani, Bizusa, Kalubona, Bigusa, Abagusa, Zesali ne Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweererezanga mu maaso ga Akaswero kabaka,#2 Sam 13:28, Es 2:21; 6:2; 7:9 11okuleeta Vasuti kaddulubaale mu maaso ga kabaka ng'atikidde engule ey'obwakabaka ayolese eri amawanga n'abakungu obulungi bwe; kubanga kaddulubaale yali mulungi okutunuulira.#Es 2:17 12Naye kaddulubaale Vasuti n'agaana okujja nga kabaka bwe yalagira nga amutuumira abalaawe, kabaka kye yava asunguwala nnyo, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu ye. 13Awo kabaka n'agamba abagezi abaategeera ebiro, kubanga eyo ye yali empisa ya kabaka okwebuuza ku bakugu mu by'amateeka n'emisango.#Dan 2:12,13; 4:6,7, Mat 2:1 14Abasajja abali okumpi naye baali: Kalusena, Sesali, Adumasa, Talusiisi, Meresi, Malusema ne Memukani, abakungu omusanvu (7) ab'e Buperusi n'e Bumeedi, abaalabanga amaaso ga kabaka era abaatuulanga ku ntebe ez'oku mwanjo mu bwakabaka, abo be baamuddiriranga.#2 Bassek 25:19, Ezer 7:14 15“Okusinziira ku mateeka tunaakola tutya kaddulubaale Vasuti, kubanga takoze ekyo kabaka Akaswero ky'amulagidde; bwamutumidde abalaawe?” 16Awo Memukani n'addamu mu maaso ga kabaka n'abakungu nti, “Vasuti kaddulubaale tanyoomye kabaka yekka era naye n'abakungu bonna n'amawanga gonna agali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero. 17Kubanga ekikolwa kino ekya kaddulubaale kiryatiikirira mu bakazi bonna okunyoomanga babbaabwe mu maaso gaabwe bwe kinaabuulirwanga nti, ‘Kabaka Akaswero yalagira Vasuti kaddulubaale okuleetebwa mu maaso ge naye n'atajja.’ 18Awo ku lunaku luno abakyala ab'e Buperusi n'e Bumeedi abawulidde ekikolwa kya kaddulubaale banaagamba bwe batyo abakungu bonna aba kabaka. Kale walibaawo okunyooma kungi n'obusungu. 19Kabaka bw'anaasiima bw'atyo, alaalike ekiragiro kya kabaka, era kiwandiikibwe mu mateeka aga Abaperusi n'Abameedi kireme okuwaanyisibwa, Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga kabaka Akaswero; era n'obukulu bwe obwa kaddulubaale kabaka abuwe omulala amusinga obulungi.#Es 8:8, Dan 6:8 20Awo bwe banaalaalika etteeka lya kabaka ly'anaateeka okubunya obwakabaka bwe bwonna, kubanga bunene, kale abakazi bonna banassangamu ekitiibwa babbaabwe, abakulu n'abato.”#Bef 5:22, Bak 3:18, 1 Tim 2:12, 1 Peet 3:1 21Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka n'abalangira; kabaka n'akola ng'ekigambo kya Memukani bwe kyali; 22kubanga yaweereza ebbaluwa mu masaza gonna aga kabaka, mu buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, na buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, buli musajja afugenga mu nnyumba ye ye, era akiraalike ng'olulimi lw'abantu be bwe lwali.#Es 3:12; 8:9

Currently Selected:

Eseza 1: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in