YouVersion Logo
Search Icon

Omubuulizi 10

10
1Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag'omugavu ag'omufumbi wa kalifuwa; bwe kityo n'obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa. 2Omutima gw'omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo; naye omutima gw'omusirusiru guba ku mukono gwe ogwa kkono. 3Era, weewaawo, omusirusiru ne bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwako, n'agamba buli muntu nga bwali omusirusiru.#Nge 13:16 4Omukulu akufuga bw'akusunguwaliranga, tovanga mu kifo kyo; kubanga okumenyeka kukkakkanya okunyiiga okungi.#1 Sam 25:24, Nge 25:15, Mub 8:3 5Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, kwe kusobya okuva eri omukulu; 6obusirusiru nga butuuzibwa awali ekitiibwa ekinene, abagagga ne batuula mu kifo ekya wansi. 7Nnalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, n'abalangira nga batambula ng'abaddu ku ttaka. 8Asima obunnya alibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimubojja.#Zab 7:15 9Buli asimula amayinja galimusala; n'oyo ayasa enku zirimuleetera akabi. 10Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n'olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera amaanyi ng'okikozesa; naye amagezi gasobozesa omuntu okuwangula. 11Omusota bwe gumala okubojja, oyo aloga emisota ne gitabojja, aba takyagasa.#Yer 8:17 12Ebigambo eby'akamwa k'omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy'omusirusiru girimumira ye yennyini. 13Okusooka kw'ebigambo eby'omu kamwa ke busirusiru, n'enkomerero y'okwogera kwe ddalu erireeta akabi. 14Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo, naye omuntu tamanyi ebiribaawo; era ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okubimubuulira?#Mub 6:12 15Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga. 16Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana muto, ate abakulu bo ne balya enkya!#Is 3:4; 5:11 17Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo ne baliira mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira!#Nge 31:4 18Olw'obugayaavu akasolya kabotoka; era olw'okugayaala kw'emikono ennyumba etonnya. 19Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n'omwenge gusanyusa obulamu, naye effeeza eyanukulira byonna.#Zab 104:15 20Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula, kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo.#Kuv 22:28

Currently Selected:

Omubuulizi 10: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in