1
Omubuulizi 10:10
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n'olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera amaanyi ng'okikozesa; naye amagezi gasobozesa omuntu okuwangula.
Compare
Explore Omubuulizi 10:10
2
Omubuulizi 10:4
Omukulu akufuga bw'akusunguwaliranga, tovanga mu kifo kyo; kubanga okumenyeka kukkakkanya okunyiiga okungi.
Explore Omubuulizi 10:4
3
Omubuulizi 10:1
Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag'omugavu ag'omufumbi wa kalifuwa; bwe kityo n'obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa.
Explore Omubuulizi 10:1
4
Omubuulizi 10:12
Ebigambo eby'akamwa k'omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy'omusirusiru girimumira ye yennyini.
Explore Omubuulizi 10:12
5
Omubuulizi 10:8
Asima obunnya alibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimubojja.
Explore Omubuulizi 10:8