Ekyamateeka Olwokubiri 8
8
Ensi ennungi gye bagenda okutuulamu
1“Ebiragiro byonna bye mbalagira leero munaabikwatanga ne mubikola, mulyoke mubeerenga abalamu, mwalenga, muyingire mutuule mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe. 2Era munajjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wammwe lwe yabatambuza mu ddungu emyaka ana (40), alyoke abatoowaze, abagezese, ategeere ebyali mu mitima gyammwe, oba nga munaakumanga ebiragiro bye oba nedda.#Kuv 15:25; 16:4, Ma 2:7, 2 Byom 32:31, Am 2:10 3N'abatoowaza n'abalumya enjala, n'abaliisa emmaanu gye mwali temumanyi wadde bajjajjammwe, alyoke abayigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula n'olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama.#Kuv 16:2,3,12-15, Zab 78:23-25, Mat 4:4, 1 Kol 10:3 4Ebyambalo byammwe tebyakaddiwako n'ebigere byammwe tebyazimbako emyaka gyonna ana.#Ma 29:5, Nek 9:21 5Era mutegeerenga mu mitima gyammwe nti ng'omuntu bw'akangavvula omwana we, ne Mukama Katonda wammwe bw'abakangavvula mmwe.#2 Sam 7:14, Nge 3:11,12, Kub 3:19 6Era muneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mutambulira mu makubo ge nga mumussaamu ekitiibwa. 7Kubanga Mukama Katonda wammwe abatwala mu nsi ennungi omuli amazzi ag'emigga, ag'enzizi n'ebidiba, agakulukutira mu nsozi ne mu biwonvu; 8ensi ey'eŋŋaano ne sayiri, n'emizabbibu n'emitiini n'emikomamawanga; 9ensi mwonooliiranga emmere nga teggwaawo, toobengako ky'obulwa omwo; enjazi zaayo zirimu ekyuma, ne mu nsozi zaayo muyinza okusimamu ekikomo. 10Era munaalyanga ne mukkuta, ne mwebaza Mukama Katonda wammwe olw'ensi ennungi gye yabakuwa.”
Abaana ba Isiraeri balabulwa obuteerabiranga Mukama Katonda
11“Mwekuumenga muleme okwerabira Mukama Katonda wammwe, obutagonderanga biragiro bye n'amateeka ge byembalagira leero: 12bw'onoomalanga okulya n'okkuta, era ng'omaze okuzimba ennyumba ennungi n'okutuula omwo;#Nge 30:9, Kos 13:6 13era ente zo n'embuzi zo nga zaaze, n'effeeza yo ne zaabu yo nga byaze, ne byonna by'olina nga byaze; 14kale omutima gwo gulemenga okufuna amalala ne weerabira Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu;#Zab 106:21 15eyabayisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota n'enjaba eby'obusagwa. Mu ddungu eryo ekkalu omutaali mazzi, yabaggyira amazzi mu lwazi olw'embaalebaale; oyo#Kuv 17:6, Kubal 21:6, Kos 13:5 16eyabaliisizazanga emmaanu mu ddungu, bajjajjammwe gye batalyangako, alyoke abatoowaze, abagezese, era ku nkomerero alyoke abawe ebirungi era abakole bulungi. 17Temwogeranga mu mitima gyammwe nti, ‘Obuyinza bwaffe n'amaanyi g'emikono gyaffe bye bitufunidde obugagga buno.’#Ma 9:4 18Naye munajjukiranga Mukama Katonda wammwe, kubanga oyo y'abawa obuyinza okufuna obugagga; alyoke atuukirize endagaano gye yalayirira ne bajjajjammwe nga bwe kiri leero.#Ma 7:12, Nge 10:22, Kos 2:8 19Awo olunaatuukanga, bwe muneerabiranga Mukama Katonda wammwe ne mugoberera bakatonda abalala ne mubaweereza, ne mubasinza, mbategeeza leero nga temulirema kuzikirira. 20Bwe muligaana okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe, nammwe mulizikirira bwe mutyo ng'amawanga Mukama g'alizikiriza mu maaso gammwe.”#Dan 9:11-12
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 8: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.