bw'onoomalanga okulya n'okkuta, era ng'omaze okuzimba ennyumba ennungi n'okutuula omwo; era ente zo n'embuzi zo nga zaaze, n'effeeza yo ne zaabu yo nga byaze, ne byonna by'olina nga byaze; kale omutima gwo gulemenga okufuna amalala ne weerabira Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu