Amosi 9
9
Okuzikiriza ekyoto
1Nnalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekyoto, n'alagira nti, “Kuba emitwe gy'empagi za Yeekaalu, emiryango gikankane. Era gimenye gigwe ku mitwe gy'abantu. Abo abasigaddewo ndibattira mu lutalo. Tewaliba ku bo alidduka, wadde awonawo n'omu.#Balam 16:26-30 2Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo, era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, era ndibawanulayo.#Zab 139:8,9 3Ne bwe balyekweka ku ntikko y'Olusozi Kalumeeri, era ndibanoonya ne mbaggyayo. Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw'ennyanja wansi, era ndiragira ogusota gwayo ne gubabojja. 4Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu busibe, era ndiragira ne battirwa eyo n'ekitala. Nze mmaliridde okubazikiriza, sso si kubakwatirwa kisa.”#Yer 21:10 5Mukama, Katonda ow'eggye, ye wuuyo akwata ku nsi n'esaanuuka, ne bonna abagibeeramu ne banakuwala, yonna n'etumbiira ate n'ekka ng'Omugga Kiyira.#Zab 46:6 6Ye wuuyo azimba ennyumba ye mu ggulu, era waggulu w'ensi n'ateekawo ebbanga. Ye ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu. Mukama lye linnya lye.#Zab 104:3 7Bwati bw'ayogera Mukama nti, “Mmwe abaana ba Isiraeri mbalowoozako nga bwe ndowooza ku baana b'Abaesiyopya. Nga bwe nnaggya Isiraeri mu nsi y'e Misiri, bwentyo era bwe nnaggya Abafirisuuti e Kafutooli, n'Abasuuli e Kiri.#Yer 47:4, Am 1:5 8Nze Mukama Katonda, kaakano nneekalirizza obwakabaka buno obwa Isiraeri obukola ebibi, era ndibusaanyawo ku nsi, naye sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo,” bwatyo bw'ayogera Mukama.#Yer 30:11 9“Ndiragira okuwewa ennyumba ya Isiraeri mu mawanga gonna, ng'eŋŋaano bw'ewewerwa mu lugali, okuggyamu bonna abatalina mugaso,#Is 30:28, Luk 22:31 10mu bantu bange, abo bonna abakola ebibi, era abagamba nti, ‘Akabi tekalitutuukako, wadde okutusemberera,’ balifa n'ekitala.”#Am 6:3 11Mukama agamba nti, “Olunaku lulituuka lwe ndizaawo obwakabaka bwa Dawudi, obuli ng'ennyumba eyagwa. ndibuddaabiriza, ne mbuzzaawo nga bwe bwali edda.#Bik 15:16-18 12Olwo Isiraeri alitwala ekitundu kya Edomu ekisigaddewo n'amawanga gonna agatuumibwa erinnya lyange,” bw'ayogera Mukama akola kino. 13“Ennaku zijja,” bw'ayogera Mukama, “akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba ezabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo. Omwenge omuwoomerevu gulikulukuta okuva ku nsozi ne ku busozi bwonna.#Leev 26:5, Yo 3:18 14Era ndikomyawo abantu bange Isiraeri mu nsi yaabwe. Kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo ettayo ne babibeeramu. Balisimba ensuku ez'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu.#Is 61:4, Yer 31:5 15Ndibasimba abantu bange mu nsi yaabwe, so tebalisimbulwa nate mu nsi gye mbawadde, bwatyo” bw'ayogera Mukama Katonda wo.#Yer 24:6
Currently Selected:
Amosi 9: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.