Amosi 3
3
Okulabula Isiraeri
1Muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko, mmwe abaana ba Isiraeri, eggwanga lyonna lye yaggya mu nsi ey'e Misiri, agamba nti,#Am 1:10; 7:16 2“Mmwe mwekka be nnamanya ku bika byonna eby'ensi ne mbalonda, kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwammwe bwonna.#Ma 7:6, Zab 147:19,20, Mat 11:21-23, Bar 2:9 3Ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga batabaganye? 4Empologoma ewulugumira mu kibira nga terina muyiggo? Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo nga terina ky'ekutte? 5Ekinyonyi kikwatibwa mu mutego nga tebakiteze kakunizo? Omutego gumasuka nga tewali kigumasudde? 6Bafuuwa ekkondeere ly'olutalo mu kibuga, abantu ne batatya? Akabi kagwa mu kibuga, Mukama nga si ya kaleese?#Ez 33:3, Is 45:7, Mi 1:12 7Mazima Mukama Katonda taliiko ky'akola wabula ng'amaze okukibikkulira abaweereza be, bannabbi.#Lub 18:17 8Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde, ani ataawe bubaka bwe?”#Kubal 22:38
9Mulangirire mu mbiri z'omu Asudodi n'ez'omu Misiri, mugambe nti, “Mukuŋŋaanire ku nsozi ez'e Samaliya, mulabe obujagalalo obuli eyo, n'ejjogo eririyo.”#1 Bassek 16:24; 21:1-16 10Mukama agamba bwati, “Abantu abo tebamanyi kukolera ku mazima: bateeka mu mayumba gaabwe ebintu ebinyage n'ebibbe.”#Kuv 12:17,51 11Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, “Omulabe kyaliva yeetooloola ensi yaabwe, n'amenya ebigo byabwe, n'anyaga eby'omu mayumba gaabwe.”#Kubal 6:2,3 12Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Ng'omusumba bw'asuuzaako amagulu abiri oba ekitundu ky'okutu eky'endiga eriiriddwa empologoma, bwe batyo n'abaana ba Isiraeri ababeera mu Samaliya bwe baliwonawo abatono ku abo kaakati abagandaalira mu buliri obw'omuwendo omungi.”#Kuv 22:13 13“Muwulire era mulabule ennyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama Katonda, Katonda ow'eggye.#Zab 50:7 14Ku lunaku lwe ndibonereza Isiraeri olw'ebyonoono bye, era ndisaanyaawo n'ebyoto bye e Beseri, n'amayembe g'ekyoto galisalibwako ne gagwa wansi.#1 Bassek 13:1-3, Kos 10:15 15Ndisaanyaawo amayumba ge babeeramu mu budde obw'obutiti, n'amayumba ge babeeramu mu budde obw'ekyeya. Amayumba agatimbiddwa amasanga galisaanawo n'amayumba amanene galizikirizibwa, bw'ayogera Mukama.”#Balam 3:20, 1 Bassek 22:39, Yer 36:22
Currently Selected:
Amosi 3: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.