Amosi 2
2
Obubaka Eri Mowaabu
1Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu be Mowaabu bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bayokya amagumba ga kabaka wa Edomu n'ebagafuula evvu. 2Kale ndiweereza omuliro ku Mowaabu, era gulyokya amayumba ge Keriyoosi. Abantu be Mowaabu balifiira mu kasasamalo k'olutalo, ng'abatabaazi baleekaana, nga bwe bafuuwa amakkondeere.#Yer 48:24 3Ndizikiriza omufuzi we Mowaabu wamu n'abakungu be bonna, bwatyo bw'ayogera Mukama.”#Yer 48:7
Obubaka Eri Yuda
4Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Yuda bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama, era tebakutte biragiro byange. Eby'obulimba bajjajjaabwe bye baagobereranga bibawabizza.#Leev 26:14,15, Ez 20:13, Dan 9:11, Bar 1:25 5Kale ndiweereza omuliro ku Yuda, era gulyokya amayumba g'omu Yerusaalemi.”#Yer 17:27, Kos 8:14
Obubaka Eri Isiraeri
6Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu ba Isiraeri bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga batunze mu buddu abantu abatalina musango, n'abaavu abatasobola kusasulira wadde omugogo gw'engatto.#Leev 25:39, Am 8:6 7Balinnyirira abatesobola ng'abalinnyirira enfuufu ey'oku nsi, era bakyamya olugendo olw'abawombeefu. Omulenzi ne kitaawe benda ku muwala omu, bwe batyo ne boonoona erinnya lyange ettukuvu.#Yob 24:4, Is 10:2, Ez 22:11, Am 5:12, 1 Kol 5:1 8Bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze baggye ku baavu ng'omusingo. Mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw'abo be batanziza.#Kuv 22:26 9Naye mmwe abantu bange kwali kubalumirwa, nze okusaanyaawo Abamoli nga mulaba, abaali abawanvu ng'emivule, era ab'amaanyi ng'emyera. Ebyabwe byonna nabizikiriza okuva ku bibala ebyali waggulu okutuuka ku mirandira egyali wansi. 10Nnabaggya mu nsi y'e Misiri ne mbakulembera emyaka ana mu ddungu, ne ndyoka mbawa ensi y'Abamoli ebe yammwe.#Kuv 12:17,51 11Nnalonda abamu ku batabani bammwe okuba bannabbi, n'abamu ku balenzi bammwe okuba Abawonge. Si bwe kiri bwe kityo, mmwe abaana ba Isiraeri? Bw'ayogera Mukama.#Kubal 6:2,3 12Naye mmwe mwadda mu kuwa Abawonge omwenge okunywa, ne muwa bannabbi ebiragiro nga mubagamba nti, ‘Temulagula.’#Is 30:10, Am 7:13,16 13Kale kaakano nja kubanyigiriza ku ttaka, mube ng'ekigaali ekyetisse ebinywa by'eŋŋaano. 14Amaanyi agokudduka galibula ow'embiro, ab'amaanyi baliggwaamu endasi, n'omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.#Zab 33:16,17, Is 30:16-17, Yer 9:23 15Abalasi b'obusaale tebaliguma kuyimirirawo, omuddusi w'embiro talyewonya wadde n'oyo eyeebagala embalaasi talisobola kuwonya bulamu bwe. 16Ku lunaku olwo, abalwanyi nnamige balisuula eby'okulwanyisa byabwe ne badduka bukunya, bwatyo bw'ayogera Mukama.”
Currently Selected:
Amosi 2: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.