Ebikolwa by'Abatume 7
7
Suteefano mu Lukiiko
1Kabona asinga obukulu n'ayogera nti, “Ebyo bwe biri bwe bityo?” 2Suteefano n'agamba nti, “Abasajja ab'oluganda era bassebo, muwulire. Katonda ow'ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng'ali e Mesopotamiya, nga tannabeera Kalani,#Zab 29:3, Lub 11:31; 15:7 3n'amugamba nti,‘ Va mu nsi yannyo ne mu kika kyo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’#Lub 12:1; 48:4 4Awo n'ava mu nsi y'Abakaludaaya, n'abeera mu Kalani: oluvannyuma kitaawe bwe yamala okufa, n'amuggyayo n'amuleeta mu nsi eno mwe mutudde kaakano;#Lub 11:32; 12:5 5so teyamuwa butaka muno newakubadde awalinnyibwa ekigere: n'asuubiza okugimuwa okugirya, ye n'ezzadde lye oluvannyuma lwe, nga tannaba na mwana.#Lub 12:7; 13:15; 17:8; 48:4, Ma 2:5 6Katonda n'ayogera bw'ati ng'ezzadde lye baliba bagenyi mu nsi y'abalala; balibafuula abaddu, balibakola obubi emyaka bikumi bina (400).#Lub 15:13,14 7N'eggwanga eriribafuula abaddu nze ndisala omusango gwalyo, bwe yayogera Katonda: n'oluvannyuma balivaayo balinsinziza mu kifo kino.#Kuv 3:12 8N'amuwa endagaano ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bajjajja abakulu ekkumi n'ababiri (12).”#Lub 17:10; 21:4
9“Bajjajja abakulu bwe baakwatirwa Yusufu obuggya ne bamutunda mu Misiri. Katonda n'abeeranga naye,#Lub 37:11,28; 39:1,2,21; 45:4 10n'amulokola mu nnaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka w'e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri ne mu nnyumba ye yonna.#Lub 39:21; 41:38-45, Zab 105:21 11Enjala n'egwa ku nsi yonna ey'e Misiri n'eya Kanani, n'ennaku nnyingi, so ne batalaba mmere bajjajjaffe. 12Naye Yakobo bwe yawulira ng'emmere enkalu eri Misiri, n'atuma bajjajjaffe omulundi ogwolubereberye:#Lub 42:2 13n'omulundi ogwokubiri Yusufu baganda be ne bamutegeera: ekika kya Yusufu ne kimanyibwa Falaawo.#Lub 45:3,16 14Yusufu n'atuma n'ayita Yakobo kitaawe ne baganda be bonna, abantu nsanvu mu bataano (75).#Lub 45:9-11; 46:27, Kuv 1:5, Ma 10:22 15Yakobo n'akkirira e Misiri, n'afiirayo, ye ne bajjajjaffe;#Lub 46:1; 49:33, Kuv 1:6 16ne batwalibwa e Sekemu; ne baziikibwa mu ntaana Ibulayimu gye yagula omuwendo gw'effeeza ku baana ba Kamoli mu Sekemu.”#Lub 23:16,17; 33:19, Yos 24:32
17“Naye ng'ebiro eby'okusuubiza bwe byali okumpi, Katonda kwe yayatulira Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri,#Kuv 1:7 18okutuusa kabaka omulala lwe yabaawo ku Misiri ataamanya Yusufu. 19Oyo bwe yasalira amagezi eggwanga lyaffe, n'akola obubi bajjajjaffe, ng'abasuuzanga abaana baabwe abawere baleme okubeera abalamu.#Lub 24:7, Kuv 1:9,22 20Mu biro ebyo Musa n'azaalibwa, n'abeera mulungi eri Katonda, ne bamuliisiza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe.#Kuv 2:2, Beb 11:23 21Bwe yasuulibwa, muwala wa Falaawo n'amutwala n'amulera ng'omwana we.#Kuv 2:5,10, Kuv 2:22; 12:40 22Musa n'ayigirizibwa mu magezi gonna ag'e Misiri; n'abeera wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye.”
23“Naye bwe yaweza emyaka ana (40), n'alowooza mu mutima gwe okulaba baganda be, abaana ba Isiraeri.#Kuv 2:11 24Bwe yalaba omuntu akolwa obubi, n'amutaasa, n'amuwoolera eggwanga omuntu eyali akolwa obubi, n'akuba Omumisiri.#Kuv 2:12 25N'alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda agenda okubawa obulokozi mu mikono gye: naye tebaategeera. 26Nate ku lunaku olwokubiri n'abasanga nga balwana, n'agezaako okubatabaganya, ng'agamba nti Abasajja, mmwe muli ba luganda: kiki ekibakoza obubi mwekka na mwekka?#Kuv 2:13 27Naye oli eyali akola munne obubi n'amusindika eri, ng'agamba nti Ani eyakufuula ggwe omukulu n'omulamuzi waffe?#Kuv 2:14, Luk 12:14 28Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri jo? 29Musa n'adduka olw'ekigambo ekyo, n'abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri ab'obulenzi.”#Kuv 2:15,22; 18:3,4
30“Awo oluvannyuma lwe emyaka ana, malayika wa Mukama n'amulabikira mu nnimi z'omuliro nga gwaka mu kisaka, bwe yali mu ddungu ku lusozi Sinaayi.#Kuv 3:2, Ma 33:16 31Musa bwe yalaba ne yeewuunya ky'alabye. Bwe yasembera okwetegereza, ne wabaawo eddoboozi lya Mukama 32nti Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyaguma kutunuulira.#Kuv 3:6 33Mukama n'amugamba nti Sumulula engatto eziri mu bigere byo: kubanga mu kifo wano w'oyimiridde watukuvu.#Kuv 3:5 34Okulaba ndabye okukolwa obubi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale kaakano jjangu, nnaakutuma mu Misiri.”#Kuv 2:24; 3:7,10
35“Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi? Oyo Katonda gwe yatuma okuba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka.#Kuv 2:14 36Oyo n'abaggyayo bwe yamala okukola amagero n'obubonero mu Misiri, ne mu Nnyanja Emmyufu, ne mu ddungu emyaka ana (40).”#Kubal 14:33, Kuv 7:3,10; 14:21
37“Oyo ye Musa oli eyagamba abaana ba Isiraeri nti Katonda alibaleetera nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze.#Bik 3:22, Ma 18:15 38Oyo ye yali mu kkanisa mu ddungu, wamu ne malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu ne bajjajjaffe; eyaweebwa ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe:#Bik 7:53, Kuv 19:3, Ma 9:10 39bajjajjaffe gwe bataayagala kuwulira, naye baamusindika eri, ne baddayo e Misiri mu mitima gyabwe,#Kubal 14:3 40nga bagamba Alooni nti Tukolere bakatonda abalitukulembera: kubanga Musa oyo, eyatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.#Kuv 32:1,23 41Ne bakola ennyana mu nnaku ziri, ekifaananyi ne bakireetera ssaddaaka, ne basanyukira emirimu gy'emikono gyabwe.#Kuv 32:4,6 42Naye Katonda n'akyuka, n'abawaayo okusinzanga eggye ery'omu ggulu; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti”#Yer 19:13, Am 5:25-27
“ ‘Mwampeeranga nze ensolo ezattibwanga ne ssaddaaka
Emyaka ana (40) mu ddungu,
ennyumba ya Isiraeri?
43Ne musitula eweema ya Moloki,
N'emmunyeenye ya katonda Lefani,
Ebifaananyi bye mwakola okubisinzanga:
Nange ndibatwala okusukka Babbulooni.’ ”
44“N'eweema ey'obujulirwa yali ne bajjajjaffe mu ddungu, nga bwe yalagira eyagamba Musa okugikola ng'engeri gye yalaba bwe yali:#Kuv 25:40 45bajjajjaffe bwe baagiweebwa ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baalya amatwale g'ab'amawanga, Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe okutuusa mu nnaku za Dawudi;#Lub 17:8; 48:4, Ma 32:49, Yos 3:14; 18:1 46eyasiimibwa mu maaso ga Katonda, n'asaba okumunoonyeza aw'okutuuza Katonda wa Yakobo.#2 Sam 7:2, Zab 132:5 47Naye Sulemaani n'amuzimbira ennyumba.#1 Bassek 6:1 48Naye Ali waggulu ennyo tatuula mu nnyumba ezaakolebwa n'emikono; nga nnabbi bw'ayogera nti”#Is 66:1,2
49“ ‘Eggulu ye ntebe yange,
N'ensi ye ntebe y'ebigere byange:
Nnyumba ki gye mulinzimbira?
bw'ayogera Mukama:
Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50Omukono gwange si gwe gwabikola
ebyo byonna?’ ”
51“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwa mu mitima ne mu matu, mmwe muziyiza bulijjo Omwoyo Omutukuvu; nga bajjajjammwe, nammwe bwe mutyo.#Kuv 32:9, Leev 26:41, Kubal 27:14, Yer 9:26, Is 63:10 52Nnabbi ki gwe bataayigganya bajjajjammwe? Battanga abaasooka okubuulira ebigambo eby'okujja kwe Omutuukirivu, gwe mumaze okuwaayo kaakano okumutta;#2 Byom 36:16, Mat 23:31 53Mmwe abaaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika, so temwagakwata.”#Kuv 20:1-26, Bag 3:19, Beb 2:2
Suteefano attibwa nga akubwa amayinja
54Awo bwe baawulira ebyo ne balumwa mu mitima gyabwe, ne bamulumira obujiji.#Bik 5:33 55Naye bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'akaliriza amaaso mu ggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;#Luk 22:69 56n'agamba nti, “ Laba, ntunuulidde eggulu nga libikkuse n'Omwana w'Omuntu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.” 57Ne baleekaana n'eddoboozi ddene, ne baziba amatu gaabwe, ne bamweyiwako n'omwoyo gumu, 58ne bamusindiikiriza ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abajulirwa ne bateeka engoye zaabwe ku bigere by'omulenzi, erinnya lye Sawulo.#Bik 22:20 59Ne bakuba amayinja Suteefano bwe yasaba n'agamba nti, “ Mukama wange Yesu, toola omwoyo gwange.”#Zab 31:5, Luk 23:46 60N'afukamira n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Mukama wange, tobabalira kibi kino.” Bwe yamala okwogera ebyo naafa.#Luk 23:34
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 7: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.