YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 5

5
Ananiya ne Safira bafa olw'obulimba
1Naye omusajja erinnya lye Ananiya ne Safira mukazi we n'atunda ebibye, 2ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng'amanyi, n'aleetako kitundu butundu n'akiteeka ku bigere by'abatume.#Bik 4:37 3Naye Peetero n'agamba Ananiya nti, “ Lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, okulimba Omwoyo Omutukuvu, ne weeterekerako ku muwendo gw'ennimiro?#Yok 13:2 4Bwe yali eyo, teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki oteeseezza mu mutima gwo okukola bw'otyo? Tolimbye bantu, wabula Katonda.” 5Ananiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agwa n'afiirawo. Entiisa nnyingi n'ekwata bonna abaakiwulira. 6Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.
7Awo bwe waali wayiseewo essaawa ssatu, mukazi we naye n'ayingira nga tamanyi bwe bibadde. 8Peetero n'amubuuza nti, “Mbuulira, mwatunda ennimiro omuwendo bwe gutyo?” N'addamu nti, “Weewaawo, bwe gutyo.” 9Naye Peetero n'amugamba nti, “ Kiki ekibekobaanyiza okukema Omwoyo gwa Mukama? Laba, ebigere byabwe abaziise balo biri ku luggi, banaakutwala naawe.” 10Amangwago n'agwa ku bigere bya Peetero n'afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng'afudde, ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba. 11Entiisa nnene n'ekwata ekkanisa yonna ne bonna abaawulira ebyo.
Abatume bawonya abantu bangi
12Obubonero n'eby'amagero bingi ne bikolebwanga abatume. Bonna baali wamu mu kisasi kya Sulemaani. #Bik 3:11 13So ne wataba n'omu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, naye abantu ne babagulumizanga; 14abakkiriza bangi abasajja n'abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe.#Bik 2:47; 6:7; 21:20 15Abantu n'okuleeta ne baleetanga abalwadde baabwe ku nguudo z'omu kibuga, ne babateekanga ku mikeeka ne ku bitanda, Peetero bwaba ayita ekisiikirize kye kituuke ku bamu.#Bik 9:11,12, Mak 6:56 16Era ebibiina ne bikuŋŋaananga nga biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, nga baleeta abalwadde n'abaali babonyaabonyezebwa dayimooni; ne bawonyezebwanga bonna.
Abatume bayigganyizibwa
17Naye kabona asinga obukulu ne bonna abaali naye ab'omu kibiina ky'Abasaddukaayo, ne bajjula obuggya,#Bik 4:1,6 18ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly'abantu bonna. 19Naye malayika wa Mukama ekiro n'aggulawo enzigi ez'ekkomera, n'abafulumya, n'abagamba nti, #Bik 12:720Mugende, muyimirire mu Yeekaalu mubuulire abantu ebigambo byonna eby'obulamu buno.” 21Bwe baawulira ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Naye kabona asinga obukulu n'ajja n'abaali naye, n'ayita olukiiko n'abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri, n'atuma mu kkomera okubaleeta. 22Naye abaami abaagenda tebaabasanga mu kkomera, ne bakomawo, ne boogera 23nga bagamba nti, “ Ekkomera tusanze nga lisibiddwa bulungi ddala n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu.” 24Bwe baawulira ebigambo ebyo omukulu wa Yeekaalu ne bakabona abakulu, ne basoberwa mu bweraliikirivu bwabwe ekigambo kino nga bwe kijja okubuna. 25Omuntu n'ajja n'ababuulira nti, “ Laba, abantu bali be mwateese mu kkomera bali mu Yeekaalu bayimiridde nga bayigiriza abantu.” 26Awo omukulu n'abaami ne bagenda ne babaleeta, si lwa maanyi, kubanga baali batya abantu baleme okubakuba amayinja. 27Ne babaleeta ne babateeka mu maaso g'olukiiko. Kabona asinga obukulu n'ababuuza 28ng'agamba nti, “Okulagira twabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo: era, laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okuleeta ku ffe omusaayi gw'omuntu oyo.”#Mat 27:25, Bik 4:18 29Naye Peetero n'abatume ne baddamu ne bagamba nti, “ Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.#Bik 4:19, Dan 3:18 30Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu gwe mwatta mmwe bwe mwamuwanika ku muti.#Ma 21:22, Bik 3:15 31Oyo Katonda yamulinnyisa ku mukono gwe ogwa ddyo okubeera omukulu era omulokozi, okuwaayo eri Isiraeri okwenenya n'okuggyibwako ebibi:#Bik 2:33, Beb 2:10; 12:2 32naffe ffe bajulirwa b'ebigambo ebyo, era n'Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwe yawa abamugondera.”#Luk 24:48, Yok 15:26,27
33Naye bo bwe baawulira ne balumwa nnyo, ne baagala okubatta.#Bik 7:54 34Naye omuntu n'ayimirira mu lukiiko, Omufalisaayo, erinnya lye Gamalyeri, Omuyigiriza w'amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonna, n'alagira bazze abasajja ebweru akaseera:#Bik 22:3 35n'abagamba nti, “ Abasajja Abaisiraeri, mwekuume eby'abantu bano, kye mugenda okubakolako. 36Kubanga edda mu biro ebyayita Syuda yagolokoka ng'agamba nti, ‘ ye muntu omukulu.’ Abantu nga bikumi bina (400) ne beegatta naye, n'attibwa, bonna abaamuwulira ne basaasaana, emirerembe ne gikoma.#Bik 21:38 37Oluvannyuma lwe ne wasituka wo Yuda Omugaliraaya mu nnaku ez'okuwandiikibwa, n'atwala ekibiina okumugoberera: n'oyo n'abula, bonna abaamuwulira ne basaasaana.#Luk 2:2 38Ne kaakano mbagamba nti, ‘ Mwebalame abantu bano, mubaleke,’ kubanga okuteesa kuno n'omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira;#Mat 15:13 39naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng'abalwana ne Katonda.”#Bik 9:5 40Ne bamuwulira: ne bayita abatume, ne babakuba, ne babalagira obutayogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata.#Bik 22:19 41Awo ne bava mu maaso g'olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyizibbwa okukwatibwa ensonyi olw'Erinnya.#Mat 5:10-12, 1 Peet 4:13 42Buli lunaku mu Yeekaalu ne mu nnyumba eka tebaayosanga kuyigirizanga n'okubuuliranga Yesu nga ye Kristo.#Bik 18:5

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 5: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in