YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 6

6
Obujulirwa okusukka Yerusaalemi
(6:1—12:25)
Okulonda abaweereza omusanvu abaasooka mu kkanisa
1Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya okwava mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya, kubanga bannamwandu baabwe basosolwanga ne bataweebwanga kyenkanyi ebintu ebyabagabirwanga bulijjo.#Bik 4:35 2Ekkumi n'ababiri (12) ne bayita ekibiina ky'abayigirizwa, ne bagamba nti, “Tekiwooma ffe okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku mmeeza. 3Kale, ab'oluganda, mulonde abantu mu mmwe abasiimibwa musanvu, abajjudde Omwoyo Omutukuvu n'amagezi, be tunaateeka ku mulimu guno;#1 Tim 3:7,8 4naye ffe tunaanyiikiranga mu kusaba n'okuweereza ekigambo.” 5Ekigambo ekyo ne kisiimibwa mu maaso g'ekibiina kyonna; ne balonda Suteefano, omuntu eyajjula okukkiriza n'Omwoyo Omutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo, omukyufu ow'e Antiyokiya;#Bik 8:5 6ne babateeka mu maaso g'abatume; ne basaba, ne babassaako emikono.#Bik 1:24; 13:3; 14:23
7Ekigambo kya Katonda ne kibuna; omuwendo gw'abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongerako nnyo; ekibiina kinene ekya bakabona ne bagondera okukkiriza.#Bik 19:20
Suteefano akwatibwa
8Suteefano bwe yajjula ekisa n'amaanyi n'akolanga amagero n'obubonero obunene mu bantu. 9Naye ne bayimuka abantu abamu ab'ekkuŋŋaaniro eriyitibwa ery'Abalibettino, n'ery'Abakuleene n'ery'Abalegezanderiya n'ery'Abakirukiya n'ery'Abasiya, nga bawakana ne Suteefano: 10so tebaayinza kusobola magezi n'Omwoyo bye yayogeza.#Luk 21:15 11Awo ne baweerera abantu abaagamba nti, “ Twawulira oyo ng'ayogera ebigambo eby'okuvuma Musa ne Katonda.”#Mat 26:60-66 12Ne bakubiriza abantu, n'abakadde n'abawandiisi, ne bajja gy'ali, ne bamukwata, ne bamutwala mu lukiiko, 13ne bayimiriza abajulirwa ab'obulimba abaagamba nti, “ Omuntu oyo taleka kwogera bigambo ku kifo kino ekitukuvu n'amateeka:#Yer 26:11 14kubanga twamuwulira ng'agamba nti Yesu Omunazaaleesi oyo alizikiriza ekifo kino, aliwaanyisa n'empisa ze twaweebwa Musa.” 15Bwe baamwekaliriza amaaso, bonna abaali batudde mu lukiiko ne bamulaba amaaso ge nga gafaanana ng'aga malayika.

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 6: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in