YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 4

4
Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw'Abayudaaya
1Awo Peetero ne Yokaana bwe baali nga boogera n'ekibiina, bakabona n'omukulu wa Yeekaalu n'Abasaddukaayo ne bajja gye baali,#Luk 22:4,52 2nga bansunguwadde nnyo kubanga baayigiriza abantu era baabuulira mu Yesu okuzuukira mu bafu.#Bik 23:8 3Ne babakwata ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera: kubanga bwali buwungedde.#Bik 3:1 4Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza ekigambo ne bakkiriza, omuwendo gw'abasajja ne baba ng'enkumi ttaano (5,000).#Bik 2:47
5Awo enkeera, abakulu n'abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi, 6ne Ana kabona asinga obukulu, ne Kayaafa ne Yokaana ne Alegezanda, ne bonna ab'ekika kya kabona asinga obukulu: 7ne babateeka wakati, ne bababuuza nti, “Maanyi ki oba linnya ki mmwe musinzidde okukola kino?”#Mat 21:23 8Awo Peetero nga ajjudde Omwoyo Omutukuvu, n'abagamba nti, “ Abakulu b'abantu n'abakadde,#Mat 10:19,20 9bwe tuba tubuuzibwa leero olw'ekyo ekirungi ekikoleddwa kw'ono eyagongobala, ekimuwonyezza; 10kisaanye kitegeerekeke eri mwenna n'eri abantu bonna mu Isiraeri nti, mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakomerera mmwe, Katonda gwe yazuukiza mu bafu, ku bw'oyo ono ayimiridde nga mulamu mu maaso gammwe.#Bik 3:6,13,16 11Oyo lye jjinja eryanyoomebwa mmwe abazimbi, erifuuse ekkulu ery'oku nsonda.#Mat 21:42, Zab 118:22 12So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.”#Mat 1:21
13Awo bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n'okutegeera ne bategeera nga si bayigirize, bantu ba bulijjo, ne beewuunya, ne bategeera nga baali wamu ne Yesu. 14Era bwe baalaba omuntu eyawonyezebwa ng'ayimiridde nabo, nga tebaalina kya kuddamu.#Bik 3:8,9 15Naye ne babagamba okugira nga bava mu lukiiko, bamale bo bokka okusalawo eky'okubakola. 16Ne beebuuza nti, “ Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga bakoze akabonero akayatiikiridde, ekigambo ekyo kimanyiddwa abantu bonna abatuula mu Yerusaalemi, so tetuyinza kukyegaana.#Yok 11:47 17Naye kireme okweyongeranga okubuna mu bantu, tubakange balemenga okwogera mu linnya eryo n'omuntu yenna yenna.”#Bik 5:28 18Ne babayita ne babalagira balemenga okwogera n'akatono newakubadde okuyigirizanga mu linnya lya Yesu. 19Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu ne babagamba nti, “Oba nga kirungi mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga Katonda, mwogere;#Bik 5:29 20kubanga ffe tetuyinza kulema kwogeranga bye twalaba bye twawulira.” 21Nabo, oluvannyuma lw'okwongera okubakanga, baabata, nga tebalaba kye banaabalanga okubabonereza, olw'ekibiina; kubanga bonna baali batendereza Katonda olw'ekyo ekikoleddwa. 22Kubanga omuntu eyakolerwa akabonero kano ak'okuwonyezebwa yali asusizza emyaka ana egy'obukulu.
Abakkiriza basaba
23Bwe baateebwa ne bagenda mu kibiina kyabwe, ne bategeeza byonna bye bagambiddwa bakabona abakulu n'abakadde. 24Nabo bwe baawulira ne bayimusa eddoboozi lyabwe n'omwoyo gumu eri Katonda, ne bagamba nti, “Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebirimu byonna,#Kuv 20:11, Zab 146:6, Is 37:16, Luk 2:29, Kub 6:10 25ggwe eyayogerera ku bw'Omwoyo Omutukuvu mu kamwa ka jjajjaffe Dawudi omuweereza wo nti,”
“ ‘Ab'amawanga kiki ekibeesazizza akajegere,
N'ebika birowoozezza ebitaliimu?#Zab 2:1,2
26Bakabaka b'ensi baasimba ennyiriri,
N'abakulu baakuŋŋaanira wamu
Ku Mukama ne ku Kristo we. ’ ”
27“Kubanga mazima baakuŋŋaanira mu kibuga muno ku muweereza wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta, Kerode ne Pontio Piraato wamu n'ab'amawanga n'ebika bya Isiraeri,#Luk 23:12 28bakole byonna omukono gwo n'okuteesa kwo bye byalagira edda okubaawo.#Bik 2:23 29Kale kaakano, Mukama, laba okukanga kwabwe, owe abaddu bo bagume nnyo okwogeranga ekigambo kyo,#Bef 6:19 30bw'ogolola omukono gwo owonye, n'obubonero n'amagero bikolebwenga mu linnya ly'omuweereza wo omutukuvu Yesu.” 31Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakuŋŋaanira ne wakankana; bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.#Bik 2:2,4
Abakkiriza bagabanira wamu ebintu byabwe
32N'ekibiina kyabwe abakkiriza baalina omutima gumu n'emmeeme emu; so tewaali n'omu eyayogeranga nti ekintu kyalina kye kikye yekka, naye byonna baabanga nabyo mu bumu.#Bik 2:44 33N'amaanyi mangi abatume ne boogeranga okutegeeza kwabwe okw'okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. N'ekisa kingi ne kibeeranga ku bo bonna.#Bik 2:47 34Kubanga tewaali mu bo eyeetaaganga; kubanga bonna abaalina ensuku oba ennyumba baazitundanga ne baleeta omuwendo gwazo ezaatundibwanga,#Bik 2:45 35ne baguteeka ku bigere by'abatume: ne bagabiranga buli muntu nga bwe yeetaaganga.
36Ne Yusufu abatume gwe baayita Balunabba, amakulu gaalyo nti, azzamu abalala amaanyi, Omuleevi, eyazaalirwa e Kupulo,#Bik 11:22,24; 13:4; 15:39 37yalina ennimiro, n'agitunda n'aleeta ensimbi ezaavaamu naazileeta eri abatume.

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 4: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in