Ebikolwa by'Abatume 3
3
Peetero awonya eyazaalibwa nga mulema
1Awo Peetero ne Yokaana ne bagenda mu Yeekaalu mu ssaawa ey'okusabiramu, essaawa ey'omwenda. 2Waaliwo omuntu omulema okuva mu lubuto lwa nnyina eyasitulibwanga, gwe baateekanga bulijjo ku luggi lwa Yeekaalu olwayitibwanga Olulungi, okusabanga effeeza abaayingiranga mu Yeekaalu.#Bik 14:8, Yok 9:1 3Oyo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu Yeekaalu n'asaba okuweebwa effeeza. 4Peetero awamu ne Yokaana ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n'agamba nti, “Tutunuulire.”#Bik 14:9 5N'abatunuulira, ng'alowooza nti banaamuwa ekintu. 6Naye Peetero n'agamba nti, “ Effeeza ne zaabu sibirina; naye kye nnina kye nkuwa: mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, tambula.”#Bik 3:16 7N'amukwata ku mukono ogwa ddyo n'amuyimusa. Amangwago ebigere bye n'obukongovvule ne bifuna amaanyi, 8n'agolokoka mangu n'ayimirira n'atambula, n'ayingira nabo mu Yeekaalu ng'atambula ng'abuuka ng'atendereza Katonda.#Yok 5:14 9Abantu bonna ne bamulaba ng'atambula ng'atendereza Katonda, 10ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku luggi Olulungi olwa Yeekaalu okusabirizanga effeeza, ne bawuniikirira nnyo n'okwewuunya olw'ekyo ekimukoleddwa.
11Bwe yali ng'akyekutte ku Peetero ne Yokaana, ekibiina kyonna ne kijja gye baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi ekiyitibwa ekya Sulemaani nga beewuunya nnyo.#Bik 5:12 12Awo Peetero bwe yabalaba n'abagamba nti, “ Abasajja Abaisiraeri, Lwaki mwewuunya olwa kino? Mutwekaliririza ki amaaso? Mulowooza nti amaanyi gaffe ffe oba kutya kwaffe Katonda bye bimutambuzizza oyo? 13Katonda wa Ibulayimu era owa Isaaka era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mumwegaanira mu maaso ga Piraato, bwe yamalirira okumuta.#Kuv 3:6, Bik 5:30, Is 52:13; 53:11, Bik 2:23 14Naye mmwe ne mwegaana Omutukuvu era Omutuukirivu, ne mwagala okuweebwa omussi,#Mat 27:20,21 15ne mutta Omukulu w'obulamu; oyo Katonda yamuzuukiza mu bafu: ffe bajulirwa baakyo.#Bik 4:10; 5:31, Beb 2:10 16Era olw'okukkiriza erinnya lye; oyo gwe mulaba gwe mumanyi erinnya lye limuwadde amaanyi, n'okukkiriza okuli mu oyo kumuwadde obulamu buno obutuukiridde mu maaso gammwe mwenna. 17Kale kaakano, ab'oluganda, mmanyi nga mwakolera mu butamanya era nga n'abafuzi bammwe.#Luk 23:34, 1 Tim 1:13 18Naye Katonda bye yabuulira edda mu kamwa ka bannabbi bonna nga Kristo we alibonyaabonyezebwa, yabituukiriza bw'atyo.#Luk 24:27 19Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe, ebiro eby'okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke;#Bik 2:38 20naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu, 21eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby'okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye. 22Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by'alibagamba.#Ma 18:15, Bik 7:37 23Olulituuka buli mwoyo ogutawulira nnabbi oli gulizikirizibwa mu ggwanga.’#Leev 23:29 24Weewaawo ne bannabbi bonna n'abo okuva ku Samwiri n'abo abaamuddirira, bonna abaayogeranga, baabuuliranga eby'ennaku zino. 25Mmwe muli baana ba bannabbi, era ab'endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe, ng'agamba Ibulayimu nti, ‘Ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'ensi mwe biriweerwa omukisa.’#Lub 12:3; 22:18, Bag 3:8 26Okusooka gye muli Katonda, bwe yamala okuzuukiza omuweereza we n'amutuma gye muli abawe omukisa, ng'akyusa buli muntu mu bibi byammwe.”#Bik 13:46
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 3: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: