Ebikolwa by'Abatume 2
2
Okujja kw'Omwoyo Omutukuvu
1Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka, bonna baali wamu mu kifo kimu.#Leev 23:15-21, Bik 1:14 2Amangwago okuwuuma ne kuva mu ggulu ng'empewo ewuuma n'amaanyi, ne kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde.#Bik 4:31 3Ne kulabika ku bo ennimi ng'ez'omuliro nga zeeyawuddemu: buli lulimi ne lutuula ku muntu.#Mat 3:11 4Bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne batandika okwogera ennimi endala, nga Omwoyo bwe yabawa okuzoogera.#Bik 4:31; 10:44-46; 19:6
5Awo waaliwo Abayudaaya abaali babeera mu Yerusaalemi, abantu abatya Katonda, abaava mu buli ggwanga ly'abantu wansi w'eggulu.#Bik 13:26 6Okuwuuma okwo bwe kwabaawo, ekibiina ne kikuŋŋaana ne kisamaalirira, kubanga buli muntu yawulira nga boogera mu lulimi lw'ewaabwe. 7Ne bawuniikirira bonna, ne beewuunya, nga bagamba nti, “Laba, bano bonna aboogera si Bagaliraaya? 8Era kiki ffe buli muntu okuwulira olulimi lw'ewaffe gye twazaalibwa? 9Abapaazi n'Abameedi, n'Abeeramiti, n'abali mu Mesopotamiya, mu Buyudaaya ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, 10mu Fulugiya ne mu Panfuliya, mu Misiri ne mu nsi ez'e Libiya eziriraanye Kuleene, n'Abaruumi abagenyi, Abayudaaya n'abakyufu, 11Abakuleete n'Abawalabu, tuwulira bano nga boogera mu nnimi zaffe eby'ekitalo ebya Katonda.” 12Bonna ne beewuunya ne babuusabuusa ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?” 13Naye abalala ne babasekerera ne bagamba nti, “ Batamidde omwenge omusu.”
Obujulirwa bwa batume mu Yerusaalemi
(2:14—5:42)
Okwogera kwa Peetero
14Naye Peetero bwe yayimirira ne bali ekkumi n'omu (11), n'ayogerera waggulu n'abagamba nti, “ Abasajja Abayudaaya n'abatuula mu Yerusaalemi mwenna, mutegeere kino era muwulirize ebigambo byange. 15Abantu bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza; kubanga ye ssaawa ey'okusatu ey'emisana. 16Naye bino bye byayogerwa nnabbi Yoweeri nti,”#Yo 2:28-32
17“ ‘Olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Katonda,
Ndifuka Omwoyo gwange ku balina omubiri bonna:
Batabani bammwe ne bawala bammwe balyogera obunnabbi,
N'abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa,
N'abakadde bammwe baliroota ebirooto:
18Weewaawo, ne ku baddu bange n'abazaana bange mu nnaku ziri
Ndibafukira Omwoyo gwange, balyogera obunnabbi.
19Ndireeta eby'ekitalo mu ggulu waggulu
N'obubonero mu nsi wansi,
Omusaayi n'omuliro n'okunyooka kw'omukka.
20Enjuba erifuuka ekizikiza,
N'omwezi okuba omusaayi,
Olunaku lwa Mukama
Olukulu olulitenderezebwa nga terunnaba kujja.
21Olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka.’”#Bar 10:13
22“Abasajja Abaisiraeri, muwulire ebigambo bino. Yesu Omunazaaleesi, omuntu eyabalagibwa Katonda mu bigambo eby'amaanyi n'eby'amagero n'obubonero, Katonda bye yamukozezanga wakati mu mmwe, nga mmwe bwe mumanyi;#Yok 3:2 23oyo bwe yaweebwayo nga Katonda bwe yasooka okuteesa n'okumanya, mwamutwala ne mumukomerera n'emikono gy'abantu ababi, ne mu mutta.#Bik 4:28, 1 Peet 1:20 24Naye oyo Katonda yamuzuukiza, bwe yasumulula okulumwa kw'okufa: kubanga tekwayinza kumunyweza.#Bik 3:15 25Kubanga Dawudi amwogerako nti,”
“ ‘Nnalaba Mukama ennaku zonna mu maaso gange,
Kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
nneme okusagaasagana.#Zab 16:8-11
26Omutima gwange kyegwava gwesiima,
olulimi lwange ne lusanyuka;
Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi:
27Kubanga tolireka bulamu bwange mu Magombe,
So toliwaayo Mutukuvu wo kuvunda.#Bik 13:35
28Wanjigiriza amakubo g'obulamu;
Olinjijuza essanyu n'amaaso go.’”
29“Abasajja ab'oluganda, nnyinza okwogera n'obuvumu mu maaso gammwe ebya jjajjaffe omukulu Dawudi nti yafa n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali waffe ne kaakano.#Bik 13:36, 1 Bassek 2:10 30Kale, nga bwe yali nnabbi, bwe yamanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bazzukulu ab'omu ntumbwe ze alituuzaako omuntu ku ntebe ye;#Zab 89:3,4, 2 Sam 7:12,13, Zab 132:11 31bwe yalaba olubereberye, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa mu Magombe so nga n'omubiri gwe tegwavunda.#Zab 16:10 32Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, ffe fenna tuli bajulirwa. 33Awo bwe yalinnyisibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n'aweebwa okusuubiza kw'Omwoyo Omutukuvu eri Kitaawe, afuse kino kye mulabye kaakano era kye muwulidde.#Bik 1:4 34Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye yayogera yennyini nti,” #Zab 110:1
“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35Okutuusa lwe nditeeka abalabe bo okuba entebe y'ebigere byo. ’ ”
36“Kale mazima bamanye ennyumba yonna eya Isiraeri nti Katonda yamufuula Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomerera.”#Bik 5:31
37Awo bwe baawulira ebyo emitima gyabwe ne gibaluma, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti, “Abasajja ab'oluganda, tunaakola tutya?”#Bik 16:30 38Peetero n'abagamba nti, “ Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggyibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu.#Bik 3:17-19, Luk 24:47 39Kubanga okusuubizibwa kwammwe era kw'abaana bammwe n'abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe.”#Yo 2:32, Is 57:19 40Era n'abategeeza mu bigambo ebirala bingi n'ababuulirira ng'agamba nti, “ Mulokolebwe okuva mu mirembe gino egyakyama.”#Ma 32:5, Baf 2:15 41Awo abakkiriza ekigambo kye ne babatizibwa: ne bongerwako ku lunaku olwo abantu ng'enkumi ssatu (3,000).
Obulamu bw'Abakkiriza obw'okulokoka
42Awo abakkiriza ne baba nga banyiikiriranga okuyigirizibwa kw'abatume, ne mu kusseekimu, ne mu kumenya emigaati ne mu kusaba.#Bik 20:7
43Buli muntu n'atya, eby'amagero bingi n'obubonero ne bikolebwanga abatume. 44Bonna abakkiriza baali wamu, ne baba nga bassakimu mu byonna,#Bik 4:32 45eby'obugagga byabwe n'ebintu bye baali nabyo ne babitunda ne bagabiranga bonna nga buli muntu bwe yali nga yeetaaga. 46Nabo nga banyiikiranga bulijjo n'omwoyo gumu okukuŋŋaana mu Yeekaalu, ne bamenyanga emigaati mu nnyumba zaabwe, ne balyanga emmere n'essanyu n'omutima ogutalina bukuusa,#Bik 2:42 47nga batenderezanga Katonda, nga basiimibwanga abantu bonna. Mukama n'abongerangako bulijjo abaalokokanga.#Bik 4:4; 5:14; 11:21; 14:1
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 2: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: