YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 27

27
Olugendo lwa Pawulo okutwalibwa e Ruumi
(27:1—28:31)
Pawulo bamutwala e Ruumi
1Awo bwe kyasalibwawo ffe tusaabale ku nnyanja okugenda e Italiya, Pawulo n'abasibe abalala ne bakwasibwa omuserikale omukulu, ow'ekitongole kya Augusito, erinnya lye Yuliyo.#Bik 25:12 2Ne tusaabala mu kyombo eky'e Adulamutiyo ekyali kigenda ku njuyi z'e Asiya, ne tuvaayo, nga ne Alisutaluuko Omukedoni ow'e Ssessaloniika ali naffe.#Bik 19:29; 20:4 3Ku lunaku olwokubiri ne tugoba e Sidoni: Yuliyo n'akola bulungi Pawulo n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira.#Bik 24:23; 28:2,16 4Ne tuvaayo ne tusaabala nga tuyita ku mabbali ga Kupulo kubanga omuyaga gwali gutuli bubi. 5Bwe twayita mu nnyanja ey'e Kirukiya n'e Panfuliya; ne tutuuka e Mula eky'e Lukiya. 6Eyo omukulu w'ekitongole n'alabayo ekyombo ekyali kiva mu Alegezanderiya nga kigenda Italiya, n'atusaabaza mu ekyo. 7Twasaabala mpola olw'omuyaga omungi okumala ennaku nnyingi ne tutuuka lwa mpaka ku Kunido, omuyaga bwe gwatulobera, ne tuyita ku mabbali ga Kuleete mu maaso ga Salumone; 8ne tukiyitako lwa mpaka ne tutuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi; awaliraanye ekibuga Lasaya.
Amagezi ga Pawulo gaganibwa
9Bwe waayitawo ebbanga ddene, nga n'obudde bweyongera kwonoonekera ddala, nga okusaabala ku nnyanja kyakabi, nga ne nnaku ez'Okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula#2 Kol 11:25,26, Leev 16:29 10ng'abagamba nti, “Abasajja, ndaba nti olugendo luno lulibaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi si kwa bintu byokka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaffe.” 11Naye omukulu w'ekitongole n'agendera ku magezi g'omugoba w'ekyombo ne nnannyini kyo okusinga Pawulo bye yayogera. 12Kubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu omuyaga, abasinga obungi kyebaava basemba eky'okweyongerayo, oba nga kisoboka tutuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; gwe mwalo ogw'e Kuleete ogutunuulira wakati w'obukiika n'ebuvanjuba, ne wakati w'obukiika obulala n'ebuvanjuba.
Omuyaga ogw'amaanyi
13Empewo ez'omuggundu bwe zaakunta empola, ne balowooza nti bafunye kye babadde baagala, ne basimbula essika ne bayita kumpi nnyo ne Kuleete. 14Naye waali tewanayita bbanga ddene, omuyaga ogw'amaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo ne gukunta, 15ekyombo bwe kyakwatibwa ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tukireka ne tutwalibwa omuyaga. 16Ne tweyuna mu mabbali g'akazinga akayitibwa Kawuda, ne tutegana okukwata eryato: 17bwe baamala okulirinnyisa, ne baddira emigwa egy'okunyweza ekyombo ne bakisiba wansi. Bwe baatya okusuulibwa mu Suluti, ne bassa ebyali waggulu, ne batwalibwa omuyaga. 18Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olwokubiri ne batandika okusuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo. 19Ne ku lunaku olwokusatu ne bakwata ebintu ebikola ku kyombo ne babisuula mu nnyanja. 20Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba newakubadde emmunyeenye, gwo omuyaga nga gweyongera maanyi, era essuubi lyonna ery'okulokoka ne lituggwaamu. 21Bwe baamala ekiseera ekiwanvu nga tebalidde, awo Pawulo n'alyoka ayimirira wakati waabwe n'agamba nti, “ Kyabagwanira, abasajja, okumpuliriza obutava mu Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n'okulumizibwa! 22Era kaakano mbabuulirira okuguma emyoyo; kubanga tewaabe mu mmwe anaafiirwa obulamu n'akatono wabula ekyombo. 23Kubanga mu kiro, malayika wa Katonda wange gw'empeereza, yayimiridde we ndi, 24ng'agamba nti, ‘Totya, Pawulo; kikugwanidde okuyimirira mu maaso ga Kayisaali; era, laba, Katonda akuwadde bonna abagenda awamu naawe.’#Bik 23:11 25Kale mugume emyoyo, abasajja; kubanga nzikiriza Katonda nga kiriba nga bwe yaŋŋambye. 26Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.”#Bik 28:1
Ekyombo kisaanawo
27Naye ekiro eky'ekkumi n'ebina (14) bwe kyatuuka, nga tusuukundirwa eruuyi n'eruuyi mu Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti banaatera okusemberera olukalu; 28ne bagera ne balaba ebifuba abiri (20) bwe twagendako katono, ne bagera nate, ne balaba ebifuba kkumi na bitaano (15). 29Bwe baatya okuseerera awali amayinja, ne basuula amasika ana (4) ku kiwenda ne balindirira bukye. 30Abalunnyanja bwe baali baagala okudduka mu kyombo ne bamala okussa akaato ku nnyanja nga beefuula ng'abagenda okusuula ennanga mu maaso g'ekyombo. 31Pawulo n'agamba omukulu w'abasserikale n'abasserikale be nti, “Abasajja bano bwe batasigala mu kyombo, mmwe temuuyinze kulokoka.” 32Awo abasserikale ne basala emigwa gy'akaato ne bakaleka ne kagenda. 33Awo bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna okulya ku mmere, ng'agamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya (14) nga mulindirira nga temulya kantu konna, #Bik 27:27 34Kyenva mbeegayirira okulya ku mmere: kubanga okwo kunaabalokola: kubanga tewaabule luviiri ku mitwe gyammwe n'omu.”#1 Sam 14:45, 2 Sam 14:11, Mat 10:30 35Bwe yamala okwogera bwatyo n'addira omugaati, ne yeebaliza Katonda mu maaso ga bonna n'agumenyamu n'atandika okulya.#Yok 6:11, 1 Tim 4:4, Luk 22:19 36Bonna ne baguma emyoyo, ne balya ku mmere. 37Fenna abaali mu kyombo twali abantu bibiri mu nsanvu mu mukaaga (276). 38Bwe baamala okulya nga bakkuse, ne basuula eŋŋaano mu nnyanja okwongera okuwewula ku kyombo. 39Bwe bwakya enkya, nga tebamanyi gyebali: naye ne balaba ekikono ekiriko omusenyu; ne bateesa, oba nga kiyinzika, okuseeza omwo ekyombo. 40Ne bakutula amasika, ne bagaleka mu nnyanja, mu kiseera ekyo bwe baasumulula emigwa egy'enkasi egoba, ne bawanika ettanga eri mu maaso eri empewo ne boolekera ku ttale. 41Naye bwe baatuuka mu kifo amayengo abiri (2) we gaasisinkana, ne baseeza ekyombo; ensanda n'eseera n'enywera n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibukuka n'amaanyi g'amayengo. 42Abasserikale ne bateesa abasibe battibwe baleme okuwugirira okudduka. 43Naye kubanga omukulu w'abasserikale yayagala okuwonya Pawulo, n'abaziyiza okukola kye baali bateesezza. Awo n'alagira abasobola okuwuga bawuge batuuke ku lukalu. 44Abo abaali tebasobola kuwuga ne bagezaako okweyambisa ebitundutundu by'embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo bwe batyo bonna ne batuuka ku lukalu bulungi. #Bik 27:22-25

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 27: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in