Ebikolwa by'Abatume 28
28
Pawulo e Merita
1Bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera ng'ekizinga kiyitibwa Merita. 2Abantu b'okukizinga ekyo baatulaga ekisa ekitali kya bulijjo, kubanga baakuma omuliro, ne batusembeza fenna, nga ne mpewo nnyingi ate nga n'enkuba yali etandise okutonnya.#Bik 27:3, 2 Kol 11:27 3Naye Pawulo bwe yakuŋŋaanya omuganda gw'obuku, n'agussa mu muliro, embalasaasa n'evaamu olw'ebbugumu n'emwerippa ku mukono. 4Abantu b'okukizinga bwe baalaba ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bagamba bokka na bokka nti, “ Mazima omuntu ono mussi; newakubadde awonye okufiira mu nnyanja, omusango tegumuganya kubeera mulamu.” 5Naye n'akunkumulira mu muliro ekyekulula n'atabaako kabi.#Mak 16:18 6Naye bali ne balowooza nti anaazimba oba anaasinduka, okugwa eri nga mufu: naye bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira ne batalaba kibi ky'abaddeko, ne bakyuka ne bagamba nti, “ katonda.” #Bik 14:11
7Waaliwo kumpi n'ekifo ekyo ensuku z'omuntu omukulu w'ekizinga, erinnya lye Pubuliyo; oyo n'atusembeza n'atujjanjaba n'ekisa ennaku ssatu. 8Awo kitaawe wa Pubuliyo yali agalamidde, ng'alwadde omusujja n'ekiddukano ky'omusaayi: Pawulo n'ayingira mw'ali, n'asaba n'amussaako emikono n'amuwonya. 9Ekyo bwe kyakolebwa, abalala nabo abaali ku kizinga abaalina endwadde ne bajja ne bawonyezebwa: 10era abo ne batuwa ekitiibwa kinene; bwe twali tuvaayo ne baleeta ku kyombo ebintu bye twetaaga.
Pawulo atuuka mu Ruumi
11Oluvannyuma lw'emyezi esatu ne tusitula, twaviirayo mu kyombo eky'e Alegezanderiya, ekyali ku kizinga mu biro eby'omuyaga, akabonero kaakyo Ab'oluganda abalongo. 12Ne tugoba mu Sulakusa ne tumalayo ennaku ssatu: 13ne tuvaayo ne twetooloola ne tutuuka e Regio: bwe waayitawo olunaku lumu, empewo ez'omuggundu ne zikunta, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Putiyooli; 14gye twasanga ab'oluganda ne batuyita okumala wamu nabo ennaku musanvu: awo bwe tutyo ne tutuuka e Ruumi 15Ab'oluganda bwe baawulira ebigambo byaffe ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n'aguma omwoyo.
Pawulo abuulira mu Ruumi
16Bwe twayingira mu Ruumi, Pawulo n'akkirizibwa okubeera yekka, kyokka ng'alina omusserikale amukuuma.#Bik 27:3 17Awo bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ayita abakulu b'Abayudaaya: bwe baamala okukuŋŋaana n'abagamba nti, “Ab'oluganda, newakubadde nga saakola kibi ku bantu newakubadde ku mpisa za bajjajjaffe, naye nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaruumi mu Yerusaalemi:#Bik 23:1 18abo bwe baamala okunkemereza ne baagala okunsumulula, kubanga tewaali nsonga gye ndi ya kunzisa. 19Naye Abayudaaya bwe baagaana, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, si ng'alina ekigambo okuloopa eggwanga lyaffe.#Bik 25:11 20Kale olw'ensonga eyo mbayise okundaba n'okwogera nange: kubanga olw'essuubi lya Isiraeri nsibiddwa n'olujegere luno.”#Bik 26:6,7 21Bo ne bamugamba nti, “ Ffe so tetuweebwanga bbaluwa za bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so tewali ku b'oluganda eyali azze n'atubuulira oba n'ayogera ekigambo ekibi ku ggwe. 22Naye twagala okuwulira okuva gy'oli by'olowooza: kubanga enzikiriza eno, tumanyi nti bagiwakanya wonna wonna.”#Bik 24:14, Luk 2:34
23Ne bamulaga olunaku ne bajja bangi gy'ali mu kisulo; n'abannyonnyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abakkirizisa ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa ne mu bya bannabbi okuva ku makya okutuusa akawungeezi. 24Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza. 25Awo bwe balemwa okukwatagana ne bagenda, nga Pawulo amaze okwogera ekigambo kino nti, “ Omwoyo Omutukuvu yagamba bulungi bajjajjammwe mu kitabo kya nnabbi Isaaya 26ng'agamba nti,”
“ ‘Genda eri abantu bano, oyogere nti
Okuwulira muliwulira, ne mutategeera;
Okulaba muliraba, ne muteetegeereza#Is 6:9,10, Mat 13:14, Mak 4:12, Yok 12:40
27Kubanga omutima gw'abantu bano gusavuwadde,
N'amatu gaabwe bawulira bubi,
N'amaaso gaabwe bagazibye;
Baleme okulaba n'amaaso,
N'okuwulira n'amatu,
N'okutegeera n'omutima gwabwe,
N'okukyuka,
Nze okubawonya. ’ ”
28“Kale mutegeere nti obulokozi bwa Katonda buno buweerezeddwa ab'amawanga, nabo balibuwulira.” 29Bwe yayogera ebigambo ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.#Zab 67:2; 98:3, Luk 3:6, Bik 13:46
30Awo Pawulo n'amalayo emyaka ebiri miramba ng'asula mu nnyumba gye yeepangisiza, n'asembezanga bonna abajjanga gy'ali, 31ng'abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era ng'ayigirizanga mu lwatu ebigambo bya Mukama Yesu Kristo, nga tewali amuziyiza.#Bik 1:3; 28:23
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 28: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: