YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 26

26
Pawulo awoza mu maaso ga Agulipa
1Agulipa n'agamba Pawulo nti, “ Okkirizibwa okuwoza ensonga zo.” Awo Pawulo n'alyoka agolola omukono n'awoza nti:
2“Bye nnavunaanibwa Abayudaaya byonna, kabaka Agulipa, nneesiimye kubanga ŋŋenda okubiwoza leero w'oli; 3era okusinga kubanga omanyi empisa n'ebibuuzibwa byonna ebiri mu Bayudaaya: kyenva nkwegayirira ogumiikirize okumpuliriza. 4Kale empisa zange okuva mu buto ezaasooka okubeeranga mu ggwanga lyaffe ne mu Yerusaalemi, Abayudaaya bonna bazimanyi; 5abantegeera okusooka edda, singa baagala okutegeeza, bwe nneegenderezanga mu kitundu ekisinga obuzibu eky'eddiini yaffe, ne mbeera Mufalisaayo.#Bik 23:6, Baf 3:5 6Kaakano nnyimiridde okusalirwa omusango olw'essuubi Katonda lye yasuubiza bajjajjaffe;#Bik 28:20 7lye basuubira okutuukako ebika byaffe ekkumi n'ebibiri, nga banyiikira okuweerezanga Katonda emisana n'ekiro: olw'essuubi eryo, kabaka, Abayudaaya kyebavudde bampawaabira.#Bik 24:15 8Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu? 9Mazima nze nalowoozanga nzekka nga kiŋŋwanidde okukolanga obubi ebigambo bingi ku linnya lya Yesu Omunazaaleesi.#Bik 9:1-29; 22:3-21 10N'okukola ne nkolanga bwe ntyo e Yerusaalemi: nze ne nsibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe nnaweebwa obuyinza okuva eri bakabona abakulu, era bwe battibwa, ne nzikiriza okubatta. 11Era bwe nnababonerezanga emirundi mingi mu makuŋŋaaniro gonna ne mbawalirizanga okuvvoola; ne mbasunguwaliranga nnyo ne mbayigganyanga okutuuka mu bibuga eby'ebweru. 12Awo bwe nnali nga ŋŋenda e Ddamasiko nga nnina obuyinza n'okulagirwa okwava eri bakabona abakulu, 13mu ttuntu, kabaka, ne ndaba mu kkubo omusana ogwava mu ggulu ogusinga okwaka kw'enjuba ne gumasamasa ne gunneetooloola n'abaali batambula nange. 14Ne tugwa fenna wansi ne mpulira eddoboozi nga lyogera nange mu lulimi Olwebbulaniya nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? kye kizibu ggwe okusamba ku miwunda.’ 15Nze ne ŋŋamba nti,‘ Ggwe ani, Mukama wange?’ Mukama waffe n'agamba nti, ‘ Nze Yesu, gw'oyigganya ggwe. 16Naye golokoka, oyimirire ku bigere byo: kyenvudde nkulabikira, nkulonde obeerenga omuweereza era omujulirwa w'ebyo mw'ondabidde era ow'ebyo mwe nnaakulabikiranga,#Ez 2:1,3 17nga nkuwonya mu bantu ne mu b'amawanga, nze gye nkutuma okuzibula amaaso gaabwe,#Yer 1:7, 1 Byom 16:35 18bakyuke okuva mu kizikiza badde eri omusana n'okuva mu buyinza bwa Setaani badde eri Katonda, balyoke baweebwe okuggyibwako ebibi n'obusika mu abo abaatukuzibwa olw'okukkiriza nze.’#Ma 33:3, Is 35:5; 42:7,16, Bik 20:32, Bef 2:2, Bak 1:13 19Kale, kabaka Agulipa, saalema kugondera okwolesebwa okw'omu ggulu:#Bag 1:16 20naye nnasooka okubuulira ab'omu Ddamasiko ne mu Yerusaalemi, era n'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'amawanga okwenenya n'okukyukira Katonda, nga bakolanga ebikolwa ebisaanidde okwenenya.#Mat 3:8 21Abayudaaya kyebaava bankwata mu Yeekaalu ne bagezaako okunzita.#Bik 21:30,31 22Kale bwe nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja;#Luk 24:44-47 23bwe kigwanira Kristo okubonyaabonyezebwa; era ye bw'alisooka mu kuzuukira kw'abafu okubuulira omusana abantu n'ab'amawanga.”#1 Kol 15:20
24Bwe yawoza bw'atyo Fesuto n'agamba n'eddoboozi ddene nti, “Olaluse, Pawulo: okusoma okwo okungi kukufudde omulalu!” 25Naye Pawulo n'agamba nti, “ Siraluse, Fesuto omulungi ennyo, naye njogera ebigambo eby'amazima n'eby'obuntu bulamu. 26Kubanga kabaka amanyi ebigambo bino, gwe njogerera mu maaso ge n'obugumu. Kubanga mmanyi ebigambo bino tebyekwese eri kabaka n'ekimu; kubanga ekyo tekyakolebwa mu bubba.#Yok 18:20 27Okkiriza bannabbi, kabaka Agulipa? Mmanyi ng'okkiriza.” 28Agulipa n'agamba Pawulo nti, “ Mu kaseera kano akatono olowooza kunfuula Omukristaayo! #Bik 11:26, 1 Peet 4:16 29Pawulo n'addamu nti, Nsaba Katonda, mu kaseera katono, oba mu kiseera kinene, si ggwe wekka era naye ne bonna abampulira leero okufuuka nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”
30Awo Kabaka n'owessaza ne Berenike n'abaali batudde awamu nabo ne basituka ne bafuluma. 31Bwe baddayo eka, ne boogera bokka na bokka nga bagamba nti, “Omuntu ono takoze ekisaanidde okumussa oba okumusibya.” 32Agulipa n'agamba Fesuto nti, “Omuntu ono yanditeereddwa singa teyajulira Kayisaali.”#Bik 25:11

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 26: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in