YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 25

25
Pawulo ajulira ewa Kayisaali
1Awo Fesuto bwe yatuuka mu ssaza, bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ava mu Kayisaliya n'agenda e Yerusaalemi. 2Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamubuulira bye bavunaana Pawulo; ne bamwegayirira,#Bik 24:1 3abayambe atumye Pawulo aleetebwe e Yerusaalemi, nga bateekateeka okumuteegera mu kkubo okumutta.#Bik 23:15 4Naye Fesuto n'addamu nti Pawulo akuumirwa mu Kayisaliya, nga naye ye yennyini yali ateekateeka okugendayo amangu ddala. 5N'agamba nti, “Kale abakulu mu mmwe bagende nange, bamuvunaane oyo oba ng'aliko ekibi kyonna kyonna.”
6Oluvannyuma lw'ennaku nga munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olwokubiri n'atuula ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo. 7Bwe yatuuka Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy'amaanyi okumuvunaana, kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu ku gyo. 8Pawulo n'awoza nti, “Siyonoonanga mu mateeka g'Abayudaaya newakubadde ku Yeekaalu newakubadde eri Kayisaali.” 9Naye Fesuto, olw'okwagala okusanyusa Abayudaaya, n'abuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maaso gange?”#Bik 24:27 10Naye Pawulo n'agamba nti, “Nnyimiridde awali entebe esalirwako emisango eya Kayisaali, we ŋŋwanidde okusalirwa omusango: siyonoonanga eri Abayudaaya, era nga naawe bw'otegeerera ddala obulungi. 11Kale oba nga nnayonoona era nga nnakola ekigambo ekisaanidde okunzisa, sigaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, tewali muntu ayinza okumpaayo mu bo. Njulidde eri Kayisaali.” 12Fesuto bwe yamala okuteesa nabo mu lukiiko n'alyoka addamu nti, “ Nga bw'ojulidde ewa Kayisaali, kale oligenda ewa Kayisaali.”
Fesuto yeebuuza ku kabaka Agulipa
13Awo bwe waayitawo ennaku, kabaka Agulipa ne Berenike ne batuuka e Kayisaliya, okwaniriza Fesuto. 14Bwe baamalayo ennaku nnyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'agamba nti, “Waliwo omuntu Ferikisi gwe yaleka nga musibe:#Bik 24:27 15bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakadde b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga baagala okumusalira omusango. 16Ne mbaddamu nti, ‘Si mpisa ya Baruumi okuwaayo omuntu abamuvunaana nga tebannaba kubaawo mu maaso ge, era nga tannaweebwa bbanga lya kuwoza bye bamuvunaana.’ 17Awo bwe baakuŋŋaanira wano, saalwa n'akatono, naye ku lunaku olwokubiri ne ntuula ku ntebe esalirwako emisango ne ndagira okuleeta omusajja oyo. 18Bwe baayimirira abamuvunaana ne bataleeta nsonga ya bigambo bibi nga bwe nnali ndowooza; 19naye baalina ku ye ebibuuzibwa mu ddiini yaabwe n'eby'omuntu Yesu eyafa, Pawulo gwe yayogerako okuba omulamu.#Bik 18:15 20Nange bwe nnabulwa bwe nnaakebera ebyo, ne mmubuuza ng'ayagala okugenda e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino. 21Naye Pawulo bwe yajulira okukuumibwa okusalirwa omusango eri Augusito, ne ndagira okumukuuma okutuusa lwe ndimuweereza eri Kayisaali.” 22Agulipa n'agamba Fesuto nti, “Nnandyagadde nange okuwulira omuntu oyo.” N'agamba nti, “Enkya onoomuwulira.”#Luk 23:8
Pawulo mu maaso ga Agulipa
23Awo ku lunaku olwokubiri Agulipa ne Berenike bwe bajja n'ekitiibwa ekinene era bwe baayingira mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa.#Mat 10:18 24Fesuto n'agamba nti, “ Agulipa kabaka nammwe mwenna abali wano naffe, mumulaba ono, ekibiina kyonna eky'Abayudaaya gwe banneegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga boogerera waggulu nti tekimugwanidde kuba mulamu nate.#Bik 2:7; 22:22 25Naye nze ne ntegeera nga takoze kigambo ekisaanidde okumussa: naye ye bwe yajulira Augusito ne nsalawo okumuweerezaayo. 26Sirina kigambo ku ye eky'amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta we muli, era okusinga w'oli, ggwe kabaka Agulipa, bwe tunaamala okumukemereza ndyoke mbeere n'ekigambo eky'okuwandiika. 27Kubanga ndaba nga tekisaana kuweereza omusibe nga tolaze nsonga zimuvunaanibwa.”

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 25: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in