YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 24

24
Obujulirwa e Kayisaaliya
(24:1—26:32)
Pawulo awoza mu maaso ga Ferikisi
1Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, kabona asinga obukulu n'atuuka e Kayisaliya ng'ali wamu n'abakadde abamu n'omuntu omwogezi erinnya lye Terutuulo: abo ne babuulira owessaza ebigambo ebivunaanibwa Pawulo. 2Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n'atandika okumuloopa ng'agamba nti:
“Oweekitibwa Ferikisi, tufunye emirembe mingi eri ggwe, n'ebintu bingi ebirongooseddwa mu ggwanga lino olw'obufuzi bwo obulungi. 3Mu ngeri zonna era ne mu bifo byonna tubikkiriza n'okwebaza kwonna.#Bik 23:26; 26:25 4Naye saagala kwongera kukukooya, nkwegayiridde mu kisa kyo, otuweeyo akaseera katono owulirize ensonga zaffe. 5Tulabye omusajja ono nga wamutawaana nnyo, ajeemesa Abayudaaya bonna abali mu nsi zonna, ate era ye mukulu w'ekibiina ky'Abanazaaleesi.#Bik 17:6 6Yagezaako okwonoona Yeekaalu: ne tumukwata, era twali tugenda omusalira omusango ng'amateeka gaffe bwe gali:#Bik 21:28 7naye Lusiya, omukulu w'abaserikale n'ajja n'atumuggyako n'amaanyi mangi, 8n'alagira abamuvunaana okujja gy'oli. Bw'onoomwebuuliza wekka onooyinza okutegeera bino byonna bye tumuvunaana.”#Bik 23:30 9Era n'Abayudaaya abalala ne bongereza kw'ebyo, nga bagamba nti bwe bityo bwe biri.
10Awo owessaza bwe yawenya ku Pawulo okwogera, Pawulo n'addamu nti:
“Kubanga mmanyi ng'osaze emisango gye ggwanga lino okumala emyaka mingi, ŋŋenda okuwoza n'omwoyo omugumu. 11kubanga oyinza okutegeera ng'ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nzijja mu Yerusaalemi okusinza, #Bik 21:17 12abo tebansanganga mu Yeekaalu nga mpakana n'omuntu oba nga njeemesa ekibiina newakubadde mu kkuŋŋaaniro newakubadde mu kibuga. 13So tebayinza kukakasa w'oli ebigambo bye banvunaana kaakano. 14Naye kino nkyatula w'oli nti Ekkubo nga bwe liri lye bayita Enzikiriza, bwe ntyo bwe mpeereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi;#Bik 24:5 15nga nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu.#Dan 12:2, Yok 5:28,29 16Era nnyiikira mu kigambo ekyo okubeeranga n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu ennaku zonna.#Bik 23:1 17Awo emyaka mingi bwe gyayitawo ne njija okuleeta eby'abaavu eri eggwanga lyaffe n'ebiweebwayo:#Bar 15:25,26, Bag 2:10 18bwe nnali mu ebyo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya ne bansanga mu Yeekaalu nga ntukuzibwa, nga sirina kibiina newakubadde oluyoogaano, #Bik 21:27 19abo basaanye babeere wano mu maaso go bannumirize oba nga balina ekigambo ku nze. 20Oba bano boogere bennyini ekibi kye baalaba bwe nnayimirira mu lukiiko 21mpozzi kino kyokka kye n'ayogera nti, ‘ Olw'okubanga nzikiririza mu kuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango mu maaso gammwe ku lunaku luno.’ ”#Bik 23:6
22Naye Ferikisi, kubanga ye yali abasinga okumanya ebigambo eby'Ekkubo, n'abalwisaawo ng'agamba nti, “Lusiya, omukulu w'abasserikale bwalijja ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”#Bik 23:26 23N'alagira omwami n'okumuzaayo mu kkomera naye ng'amulekedde eddembe, n'obutaziyiza muntu yenna ku mikwano gye okumuweereza.#Bik 27:3
24Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n'ajja ne mukazi we Dulusira, Omuyudaaya, n'atumya Pawulo ne bamuwuliriza ku bigambo eby'okukkiriza Kristo Yesu. 25Bwe yali ng'ategeeza eby'obutuukirivu, n'eby'okwegendereza, n'eby'omusango ogugenda okujja, Ferikisi n'atya n'addamu nti Genda kaakano; bwe ndiba n'ebbanga, ndikuyita. 26Era yali asuubira Pawulo okumuwa sente, kyeyavanga amutumyanga emirundi mingi naanyumyanga naye. 27Naye bwe waayitawo emyaka ebiri, Ferikisi n'asikirwa Polukiyo Fesuto. Ferikisi olw'okwagala okusiimibwa Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe mu kkomera. #Bik 21:17

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 24: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in