YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 21

21
Pawulo agenda e Yerusaalemi
1Awo olwatuuka bwe twamala okwawukana nabo ne tusaabala butereevu okutuuka e Koosi, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Rodo, ne tuvaayo ne tutuuka e Patala. 2Bwe twasanga ekyombo nga kiwunguka okugenda e Foyiniiki, ne tusaabala ne tugenda. 3Bwe twalengera Kupulo, ne tukireka ku mukono ogwa kkono ne tugenda e Busuuli, ne tugoba e Ttuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyayagala okutikkulira ebintu. 4Bwe twalabayo abayigirizwa ne tumalayo ennaku musanvu. Abo ne bagamba Pawulo mu Mwoyo aleme okulinnya mu Yerusaalemi.#Bik 11:12; 20:23 5Awo bwe twamalayo ennaku ezo ne tuvaayo ne tugenda; bonna ne batuwerekerako wamu n'abakyala baabwe n'abaana baabwe, okutuuka ebweru w'ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja, ne tusaba;#Bik 20:36 6ne tusiibulagana, ne tusaabala mu kyombo, naye bo ne baddayo ewaabwe.
7Naffe bwe twava e Ttuulo ne tutuuka e Potolemaayi; ne tulamusa ab'oluganda ne tumala nabo olunaku lumu. 8Enkeera ne tuvaayo ne tutuuka e Kayisaliya: ne tuyingira mu nnyumba ya Firipo, omubuulizi w'Enjiri, omu ku bali omusanvu, ne tubeera naye.#Bik 8:40 9Yalina abaana be abawala bana abaali batannafumbirwa nga boogera eby'obunnabbi.#Bik 2:17 10Bwe twalwayo ennaku nnyingi, e Buyudaaya n'evaayo omuntu nnabbi erinnya lye Agabo. 11N'ajja gyetuli n'addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n'emikono gye n'agamba nti, “Bw'atyo#Bik 20:23 bw'ayogera Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba bwe batyo mu Yerusaalemi omuntu nannyini lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy'ab'amawanga.” 12Bwe twawulira ebyo, ffe era n'abantu ab'omu kitundu ekyo ne tumwegayirira aleme okulinnya mu Yerusaalemi.#Mat 16:22 13Awo Pawulo n'alyoka addamu nti, “Mukola ki ekyo? Okukaaba n'okumenya omutima gwange? Kubanga nze seetegese kusibibwa busibibwa era naye n'okufiira mu Yerusaalemi olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu.”#Bik 20:24 14Bwe twalemwa okumukkirizisa ne tumuleka, ne tugamba nti, “Mukama waffe ky'ayagala kikolebwe.”#Mat 26:39, Yok 21:18
15Awo oluvannyuma lw'ennaku ezo ne tusitula emigugu gyaffe ne tulinnya e Yerusaalemi. 16Abamu ku bayigirizwa abaava e Kayisaliya ne bagenda naffe, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni ow'e Kupulo omu ku bayigirizwa abaasooka.
17Bwe twatuuka mu Yerusaalemi ab'oluganda ne batwaniriza n'essanyu lingi nnyo.
Pawulo akyalira Yakobo
18Ku lunaku olwokubiri Pawulo wamu naffe ne tugenda ewa Yakobo; era n'abakadde bonna baaliwo.#Bik 15:13, Bag 1:19 19Bwe yamala okubalamusa n'ababuulira kinnakimu byonna Katonda bye yakola mu baamawanga mu kuweereza kwe. 20Nabo bwe baawulira ne bagulumiza Katonda; ne bamugamba nti, “ Olaba, ow'oluganda, abantu nkumi na nkumi abakkiriza mu Bayudaaya, nabo bonna bagala okukwata obutiribiri amateeka, #Bik 15:1 21abo babuulirwa ebigambo byo nti ggwe oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu b'amawanga okuleka amateeka ga Musa, baleme okukomolanga abaana baabwe newakubadde okutambuliranga mu mpisa z'Ekiyudaaya.#Bik 16:3, Bar 10:4 22Kale kiki ekiba kikolebwa? Awatali kubuusabuusa bajja kutegeera nti ozze. 23Kale kola nga bwe tukugamba: tulina abasajja bana abali ku kirayiro; 24genda nabo otukuzibwe wamu nabo, obasasulire ensimbi ez'okumwa emitwe gyabwe. Kale bonna banaategeera ng'ebigambo bye baabuulirwa ku ggwe tebiriimu; naye nga naawe wennyini weegendereza ng'okwata amateeka. 25Naye ku nsonga z'Abamawanga abakkiriza, twabawandiikira nga tubagamba nti beekuumenga ebintu ebiweebwa eri ebifaananyi n'omusaayi n'ebitugiddwa n'obwenzi.”#Bik 15:20 26Awo Pawulo n'atwala abasajja abo, ku lunaku olwaddirira n'atukuzibwa wamu nabo. N'ayingira mu Yeekaalu okutegeeza ennaku ez'okutukuza we ziriggweerako, olwo buli omu atwaleyo ekiweebwayo kye.
Pawulo asibirwa e Kayisaaliya
(21:17—23:35)
Pawulo akwatirwa mu Yerusaalemi
27Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okugwako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya abalaba Pawulo mu Yeekaalu ne basasamaza ekibiina kyonna ne bamukwata, 28nga boogerera waggulu nti, “Abasajja Abaisiraeri, mutuyambe: ono ye musajja agenda ayigiriza obubi mu buli kifo ku bantu ne ku mateeka ne ku kifo kino: era nate aleese Abayonaani mu Yeekaalu, ayonoonye ekifo ekitukuvu.”#Bik 6:13, Ez 44:7 29Kubanga baali bamaze okulaba Tulofiimo Omwefeso ng'ali naye mu kibuga: ne bategeera nti Pawulo amuleese mu Yeekaalu.#Bik 20:4, 2 Tim 4:20 30Ekibuga kyonna ne kyegugumula, abantu ne bakuŋŋaana mangu, ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi. 31Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka ku mwami omukulu w'ekitongole ekya basserikale nti Yerusaalemi kyonna kyefuukudde. 32Amangwago n'atwala basserikale n'abaami n'aserengeta mangu gye baali. Awo bwe baalaba omwami omukulu n'abasserikale ne balekerawo okukuba Pawulo. 33Awo omukulu w'abaserikale n'alyoka asembera n'akwata Pawulo, n'alagira okumusibya enjegere bbiri; n'abuuza nti ye ani, ne ky'akoze ki.#Bik 21:11; 20:23 34Abamu mu kibiina ne bamuddamu nga boogerera waggulu ng'abamu bagamba kino n'abalala nga bagamba kiri, n'atayinza kutegeera mazima olw'okuleekaana, n'alagira okumutwala mu nkambi. 35Bwe yatuuka ku madaala, n'alyoka asitulibwa abasserikale kubanga abantu baali bayitiridde obukambwe; 36kubanga ekibiina ky'abantu kyali kibagoberera nga boogerera waggulu nti, “Mumutte! Mumutte.” #Bik 22:22, Luk 23:18
Pawulo ayogera eri Ekibiina
37Awo Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu nkambi n'agamba omukulu w'abasserikale nti, “ Okkiriza mbeeko kye nkubuulira?” N'amuddamu nti, “ Omanyi Oluyonaani?” 38Si ggwe Mumisiri, mu nnaku eziyise eyajeemesa abantu, n'otwala abatemu enkumi ennya (4,000) mu ddungu?#Bik 5:36,37 39Naye Pawulo n'addamu nti, Nze ndi Muyudaaya, ow'omu kibuga Taluso eky'omu Kirukiya, omutuuze mu kibuga ekitannyoomebwa. Nkwegayiridde, nzikiriza njogere eri abantu.#Bik 9:11 40Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala n'awenya ku bantu, bwe baamala okusiriikira ddala, n'ayogera mu lulimi Olwebbulaniya ng'agamba nti:

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 21: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in