Ebikolwa by'Abatume 20
20
Pawulo e Makedoni ne Buyonaani
1Akacwano bwe kaamala okukkakkana, Pawulo n'ayita abayigirizwa n'ababuulirira n'abasiibula, n'avaayo okugenda e Makedoni. 2N'agenda ng'ayita mu bitundu ebyo ng'abagumya, n'atuuka e Buyonaani. 3Eyo n'amalayo emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga e Busuuli, n'ategeera olukwe Abayudaaya lwe baali basaze, n'asalawo okuddayo mu Makedoni. 4Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo n'amuwerekerako okutuuka mu Asiya wamu n'Abasessaloniika, Alisutaluuko ne Sekundo; ne Gayo ow'e Derube ne Timoseewo; n'Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo.#Bik 17:10; 19:29, Bar 16:21 5Bano bo ne beyongerayo ne batulindirira mu Tulowa.#Bik 16:8 6Ffe ne tusaabala okuva e Firipi nga tumaze okukwata ennaku ez'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, ne tulyoka tubatuukako. Eyo ne tumalayo ennaku musanvu.
Pawulo azuukiza Yutuko
7Awo ku lunaku olwolubereberye mu ssabbiiti, bwe twakuŋŋaana okumenya emigaati, Pawulo n'anyumya nabo, ng'ayagala okusitula enkeera, n'alwawo mu kwogera okutuusa ettumbi.#1 Kol 16:2, Bik 2:42,46 8Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nga zaaka. 9Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko eyali atudde mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi. Awo Pawulo bwe yalwawo ng'akyanyumya, ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasumattuka n'ava ku mwaliiro ogwokusatu n'agwa ebweru n'afiirawo. 10Pawulo n'akka wansi n'amusitulawo, n'agamba nti, “Temukuba biwoobe; obulamu bwe mwe buli munda.”#1 Bassek 17:21 11N'addayo waggulu n'amenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okunyumya okutuusiza ddala obudde okukya, n'alyoka avaayo. 12Omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu, ne basanyuka nnyo.
13Naye ffe ne tukulembera okutuuka ku kyombo ne tusaabala ne tutuuka e Aso, nga tulowooza ng'anatwegatirako eyo, naye ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu. 14Bwe yatusanga mu Aso naasaabala naffe ne tutuuka e Mituleene. 15Bwe twava eyo ne tusaabala, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo; ku lunaku lwokusatu ne tugoba ku Samo; ku lunaku lwokuna ne tutuuka e Mireeto. 16Kubanga Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso, aleme okulwa mu Asiya; kubanga yali ayanguwa, oba nga kiyinzika okubeera mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote.#Bik 18:21
Pawulo asiibula abakadde b'ekkanisa mu Efeso
17Bwe yali mu Mireeto n'atuma mu Efeso n'ayita abakadde b'ekkanisa. 18Bwe baatuuka gy'ali n'abagamba nti,#Bik 18:19; 19:10 “Mmwe mumanyi okuva ku lunaku olwolubereberye bwe nnalinnya mu Asiya, bwe nnabanga nammwe mu biro byonna, 19nga mpeereza Mukama waffe n'obuwombeefu bwonna n'amaziga n'okugezesebwa ebyantukako olw'enkwe z'Abayudaaya: 20bwe sseekekanga kubabuulira kigambo kyonna ekisaana, n'okubayigiririzanga mu maaso g'abantu ne mu buli nju, 21nga ntegeeza Abayudaaya era n'Abayonaani okwenenya eri Katonda n'okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo. 22Kaakano, laba, bwe nsibiddwa mu Mwoyo, ŋŋenda e Yerusaalemi, nga simanyi bye ndiraba eyo,#Bik 19:21 23wabula nga Omwoyo Omutukuvu antegeeza nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga.#Bik 9:16; 21:4,11 24Naye obulamu bwange sibutwala kuba kintu oba kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize olugendo lwange n'okuweereza kwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey'ekisa kya Katonda.#Bik 21:13 25Kaakano, laba, nze mmanyi nga temukyaddayo kulaba maaso gange mmwe mwenna be nnayitangamu nga mbuulira obwakabaka. 26Kyenva mbategeeza leero nti nze ndi mulongoofu olw'omusaayi gwa bonna,#Bik 18:6 27kubanga sseekekanga kubabuulira kuteesa kwa Katonda kwonna. 28Mwekuumenga mmwe mwekka n'ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n'omusaayi gwe yennyini.#Zab 74:2, 1 Tim 4:16, 1 Peet 5:2 29Nze mmanyi nga bwe ndimala okuvaawo emisege emikambwe giriyingira mu mmwe, tegirisaasira kisibo;#Mat 7:15; 10:16, Yok 10:12 30era mu mmwe mwekka muliva abantu nga boogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ku ludda lwabwe.#1 Yok 2:19, Bag 4:17 31Kale mutunule, mujjukire nga saalekanga kulabula n'amaziga buli muntu mu myaka esatu emisana n'ekiro.#Mak 13:35,37, 1 Bas 2:11 32Era ne kaakano mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonna abaatukuzibwa.#Ma 33:3 33Sseegombanga ffeeza ya muntu yenna newakubadde zaabu newakubadde ekyambalo.#Mat 10:8, 1 Kol 9:12, 1 Sam 12:3 34Mmwe mumanyi ng'emikono gino gye gyakolanga bye nneetaaga n'abo abali nange.#Bik 18:3, 1 Kol 4:12, 1 Bas 2:9 35Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.’ ”
36Bwe yayogera bw'atyo n'afukamira n'asaba nabo bonna.#Bik 21:5 37Ne bakaaba nnyo bonna, ne bamugwa mu kifuba Pawulo ne bamunywegera,#Bik 21:6, Bar 16:16, 1 Peet 5:14 38nga banakuwala okusinga byonna olw'ekigambo kye yayogera nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okutuuka ku kyombo.#Bik 20:25
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 20: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: