YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 22

22
Pawulo awa obujulirwa obw'okukyuka kwe
1“Ab'oluganda n'abakadde, muwulirize ensonga gyembawoleza kaakano.”#Bik 7:2; 13:26
2Bwe baawulira ng'abagambye mu lulimi Olwebbulaniya ne beeyongera okusirika: n'agamba nti:#Bik 21:40 3“Ndi Muyudaaya, nnazaalibwa mu kibuga Taluso eky'omu Kirukiya, naye ne nkulira mu kibuga kino Yerusaalemi, ne mbeera ne Gamalyeri, eyanjigiririza ddala empisa z'amateeka ga bajjajjaffe, ne nfubanga nnyo okuweereza Katonda nga nammwe bwe mukola leero. #Bik 9:15; 13:2 4Ne njigganyanga abantu b'Ekkubo n'okubatta, nga mbasibanga era nga mbateekanga mu makomera abasajja n'abakazi; 5era ne kabona asinga obukulu ye mujulirwa wange ow'ebyo n'abakadde bonna: era nabo ne bampa ebbaluwa eri ab'oluganda, ne ntambula okugenda e Ddamasiko abo abaali eyo baleetebwe mu Yerusaalemi nga basibe babonerezebwe.”
6“Awo olwatuuka bwe nnali nga ntambula nga nnaatera okutuuka e Ddamasiko, nga mu ttuntu, amangwago omusana mungi ogwava mu ggulu ne gwaka ne gunneetooloola; 7ne ngwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’ 8Nze ne nziramu nti, Ggwe ani, Mukama wange? N'aŋŋamba nti, ‘Nze Yesu Omunazaaleesi gw'oyigganya ggwe.’ 9Abaali awamu nange ne balaba omusana, naye ne batawulira ddoboozi ly'oyo eyayogera nange. 10Ne ŋŋamba nti, Nnaakola ntya, Mukama wange? Mukama waffe n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka, ogende e Ddamasiko, onoobuulirirwa eyo ebigambo ebyo byonna by'olagiddwa okukola.’ 11Bwe ssaayinza kulaba olw'ekitangaala eky'amaanyi eky'omusana guli, ne nkwatibwa ku mukono abo abaali nange ne ntuuka mu Ddamasiko.”
12“Omuntu omu erinnya lye Ananiya atya Katonda mu mateeka, eyasiimibwa Abayudaaya bonna abatuula eyo, 13n'ajja gye ndi n'ayimirira we ndi n'aŋŋamba nti, ‘Ow'oluganda Sawulo, zibula.’ Mu kiseera ekyo ne nzibula ne mulaba. 14N'agamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe yakulonda dda otegeere ebyo by'ayagala, era olabe Omutuukirivu oli, era owulire eddoboozi eriva mu kamwa ke. 15Kubanga onoobeeranga mujulirwa we eri abantu bonna ow'ebigambo by'olabye ne by'owulidde. 16Kale kaakano ekikulwisa ki? Golokoka, obatizibwe onaazibweko ebibi byo, nga weegayirira erinnya lye.’ ”
17“Awo olwatuuka bwe nnakomawo e Yerusaalemi, bwe nnali nga nsaba mu Yeekaalu, omwoyo gwange ne guwaanyisibwa 18ne mmulaba ng'aŋŋamba nti, ‘Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemi; kubanga tebalikkiriza kutegeeza kwo ku nze.’ 19Nange ne ŋŋamba nti, ‘Mukama wange, bo bennyini bamanyi nti nze nnabateekanga mu makomera era nga nnabakubiranga mu buli kkuŋŋaaniro abakukkiriza: 20era n'omusaayi ogw'omujulirwa wo Suteefano bwe gwayiibwa, nange kennyini nnali nga nnyimiridde awo, nga nsiimye, nga nkuuma ebyambalo byabwe abaamutta.’ 21N'aŋŋamba nti, ‘Genda: kubanga nze ŋŋenda kukutuma wala mu b'amawanga.’”
22Ne bamuwuliriza okutuusa ku kigambo kino, ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga bagamba nti, “Aggibwe mu nsi afaanana bw'atyo: kubanga si kirungi abeere mulamu.”#Bik 21:35 23Bwe baali nga boogerera waggulu era nga bakasuka engoye zaabwe, era nga bafuumuulira waggulu enfuufu, 24omwami omukulu n'alagira okumuleeta mu nkambi, n'alagira okumukemereza nga bwakubibwa embooko, okutegeera ensonga gye bamulanze, ekireetedde ekibiina kyonna okwogerera waggulu ku ye bwe batyo. 25Bwe baali nga bamaze okumusibya enkoba, Pawulo n'agamba omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Kikkirizibwa mu mateeka okukuba omuntu Omuruumi nga tannaba kusalirwa musango?”#Bik 16:37; 23:27 26Omusserikale bwe yawulira n'agenda eri omukulu waabwe n'amubuulira ng'agamba nti, “Ogenda kukola ki? Omusajja ono Muruumi.” 27Omukulu w'abasserikale n'agenda gy'ali, n'amugamba nti, “Mbuulira, ggwe oli Muruumi?” N'amuddamu nti, “ Yee, bwe ndi.” 28Omukulu w'abasserikale n'addamu nti, “Nze nnafuna Oburuumi nga mbusasulidde ensimbi nnyingi nnyo.” Pawulo n'amuddamu nti, “ Nze mmwe nnazaalirwa.” 29Awo amangwago abaali bagenda okumukemereza ne bamuleka, era n'omukulu w'abasserikale n'atya nnyo bwe yamala okutegeera nga Muruumi, kubanga yali alagidde okumusiba n'okumukuba embooko.
30Enkeera omukulu w'abasserikale bwe yayagala okumanya amazima ensonga Abayudaaya gye bamulanze okumuloopa, n'amusumulula n'alagira bakabona abakulu n'olukiiko lwonna okukuŋŋaana, n'aleeta Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe.

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 22: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in