Ebikolwa by'Abatume 19
19
Pawulo mu Efeso
1Awo olwatuuka Apolo bwe yali e Kkolinso, Pawulo n'ayitira ku lukalu n'atuuka mu Efeso n'asangayo abayigirizwa, 2n'abagamba nti, “Mwaweebwa Omwoyo Omutukuvu bwe mwakkiriza?” Ne bamugamba nti, “Nedda, n'okuwulira tetuwuliranga nti waliwo Omwoyo Omutukuvu.”#Bik 2:38 3N'agamba nti, “ Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?” Ne bagamba nti, “Mu kubatizibwa kwa Yokaana.” 4Pawulo n'ayogera nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw'okwenenya, ng'agamba abantu bakkirize agenda okujja oluvannyuma lwe, ye Yesu.”#Mat 3:11 5Bwe baawulira ne babatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu. 6Pawulo bwe yabassaako emikono, Omwoyo Omutukuvu n'ajja ku bo, ne boogera ennimi no kutegeeza obunnabbi.#Bik 8:17; 10:44,46 7Abantu bonna baali nga kkumi na babiri (12).
8N'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayogeranga n'obuvumu okumala emyezi esatu, ng'awakananga era ng'asendasendanga abantu okukkiriza ebigambo eby'obwakabaka bwa Katonda. 9Naye abamu bwe baakakanyala ne batawulira, nga bavumanga Ekkubo mu maaso g'ekibiina, n'ava gye baali, n'ayawula abayigirizwa, ng'awakaniranga buli lunaku mu ssomero lya Tulaano.#2 Tim 1:15, Bik 9:2, Tit 3:10,11, 2 Kol 6:17, 2 Yok 1:10 10Ebyo ne bimala emyaka ebiri, ne bonna abaali batuula mu Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama waffe, Abayudaaya n'Abayonaani.
Batabani ba Sukewa betulikirira okugoba Dayimooni
11Katonda n'akolanga eby'amagero ebitalabwanga ko buli lunaku mu mikono gya Pawulo,#Bik 14:3 12n'abalwadde ne baleeterwanga ebiremba n'engoye ez'okumubiri gwe, endwadde ne dayimooni ne bibavangako. 13Naye waliwo abantu Abayudaaya abaagendanga nga bagoba emyoyo emibi, ne beetulinkiriza okwogera erinnya lya Mukama waffe Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bagamba nti, “ Mbalayiza Yesu Pawulo gw'abuulira.”#Luk 9:49 14Awo waaliwo abaana musanvu aba Sukewa Omuyudaaya kabona omukulu, abaakola bwe batyo. 15Dayimooni n'addamu n'abagamba nti, “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe b'ani?”#Mak 1:34, Luk 4:41 16Omuntu eyaliko dayimooni n'ababuukira n'abasinza bonna amaanyi, n'abataagulataagula, n'okudduka ne badduka okuva mu nnyumba eri nga bali bwereere nga balina ebiwundu. 17Ekyo ne kitegeerwa bonna Abayudaaya n'Abayonaani abaatuulanga mu Efeso; entiisa n'ebakwata bonna, erinnya lya Mukama waffe Yesu ne ligulumizibwa.#Bik 5:5,11 18Era bangi ku bo abakkiriza ne bajja, ne baatula ne bategeeza ebikolwa byabwe. 19Era bangi ku bo abaakolanga eby'obufumu ne bakuŋŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gaabwe bonna: ne babala omuwendo gwabyo ne oguwera ebitundu bya ffeeza emitwalo ettaano. 20Bwe kityo ekigambo kya Mukama waffe ne kyeyongeranga mu maanyi ne kiwangula.#Bik 6:7; 12:24
Akegugungo mu Efeso
21Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'alowooza mu mwoyo okuyitira mu Makedoni ne Akaya, n'okugenda e Yerusaalemi, ng'agamba nti, “Bwe ndiva eyo, kiriŋŋwanira era okugenda e Ruumi.”#Bik 23:11, Bar 1:13 22N'atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, ye n'asigala mu Asiya okumala ekiseera.#Bik 17:14, Bar 16:23, 1 Kol 4:17
23Mu kiseera ekyo ne wabaawo akacwano kanene olw'Ekkubo.#Bik 19:9, 2 Kol 1:8,9 24Kubanga omuntu erinnya lye Demeteriyo, omuweesi wa ffeeza eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa Atemi obwafuniranga abaweesi amagoba amangi;#Bik 16:16 25n'akuŋŋaanya abo n'abaakolanga emirimu egyo, n'agamba nti, “ Abasajja, mumanyi nti omulimu ogwo obugagga bwaffe mwe buva; 26mulaba era muwulira nga si mu Efeso mwokka naye ne mu Asiya yonna Pawulo oyo asenzesenze era akyusizza ekibiina kinene, ng'agamba nti, ‘Abakolebwa n'emikono si bakatonda.’#Bik 17:29 27Naye si ffe fekka abali mu kabi ak'omulimu gwaffe okunyoomebwanga, naye n'essabo lya Atemi katonda omukulu omukazi okulowoozebwanga nga si kintu, n'oyo n'okuggibwa n'aggibwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonna n'ensi zonna.” 28Bwe baawulira ne bajjula obusungu ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “ Atemi w'Abaefeso mukulu.” 29Ekibuga kyonna ne kijjula okwetabula kuno; ne bafubutuka n'omwoyo gumu okutuuka mu Teyatero, nga bwe bawalula Gayo ne Alisutaluuko, ab'e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo.#Bik 20:4 30Pawulo bwe yayagala okuyingira mu bantu, abayigirizwa ne batamukkiriza. 31Era abakulu abamu aba Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamwegayirira aleme okwewaayo mu Teyatero. 32Abamu ne boogerera waggulu bulala, n'abalala bulala, kubanga ekibiina kyali kyetabudde, so n'abalala bangi ne batategeera nsonga ebakuŋŋaanyizza. 33Ne baggya Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Alegezanda n'abawenya n'omukono n'ayagala okwennyonnyola ko eri abantu. 34Naye bwe baamutegeera nga Muyudaaya, bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi limu okumala ng'essaawa bbiri nti, “ Atemi w'Abaefeso mukulu.” 35Omuwandiisi bwe yasirisa ekibiina, n'agamba nti, “ Abasajja Abaefeso, muntu ki atategeera ng'ekibuga ky'Abaefeso kye kikuuma essabo lya Atemi omukulu n'ekifaananyi ekyava eri Zewu. 36Kale kubanga ebyo tebyegaanika, kibagwanidde mmwe okukkakkana n'obutakola kintu mu kwanguyiriza. 37Kubanga muleese abantu bano abatanyaze bya mu ssabo so era tebavvodde katonda waffe omukazi. 38Kale oba nga Demeteriyo n'abaweesi abali naye balina ekigambo ku muntu, enkiiko weeziri n'abaamasaza weebali: baloopagane. 39Naye oba nga munoonya birala, binaasalirwa mu kkuŋŋaaniro eribaawo bulijjo. 40Kubanga ddala tuyinza okutuukwako akabi olw'akeegugungo kano aka leero, kubanga tewali nsonga gye tuliyinza kuwoza olw'okukuŋŋaana kuno.” 41Bwe yayogera bw'atyo n'asiibula ekibiina.
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 19: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: