YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 1

1
Ebigambo bya Yesu ebyasembayo nga tanatwalibwa mu ggulu
(1:1—2:13)
Yesu ategeeza abatume okusooka okufuna amaanyi ag'Omwoyo Omutukuvu
1Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, n'awandiika ku ebyo byonna Yesu bye yasooka okukola n'okuyigiriza,#Luk 1:3 2okutuuka ku lunaku luli lwe yatwalibwa mu ggulu, ng'amaze okuwa ebiragiro abatume be, be yalonda ku bw'Omwoyo Omutukuvu. #Luk 6:13 3Bwe yamala okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu bo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng'abalabikira mu bbanga ery'ennaku ana (40), ng'ayogera nabo eby'obwakabaka bwa Katonda. 4Awo bwe yakuŋŋaana nabo n'abalagira baleme okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubiza kwa Kitaawe kwe baawulira okuva gy'ali:#Bik 10:41, Yok 15:26, Luk 24:49 5“ kubanga Yokaana yabatiza n'amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu mu nnaku si nnyingi.”
6Awo bwe baakuŋŋaana ne bamubuuza nga bagamba nti, “ Mukama waffe, mu biro bino mw'onookomezaawo obwakabaka eri Isiraeri?”#Luk 24:21, Bik 3:21 7N'abagamba nti, “ Si kwammwe okumanya entuuko newakubadde ebiro, Kitaffe bye yateeka mu buyinza bwe ye.#Mak 13:32 8Naye mulifuna amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.”
Yesu atwalibwa mu ggulu
(Mak 16:19-20, Luk 24:50-53)
9Bwe yamala okwogera ebyo, nga batunula n'asitulibwa, ekire ne kimutoola okumuggya mu maaso gaabwe.#Mak 16:19, Luk 24:51, Yok 6:62 10Bwe baali beekaliriza amaaso mu ggulu bw'agenda, laba, abantu babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezitukula;#Luk 24:4 11abaayogera nti, “ Abantu b'e Ggaliraaya kiki ekibayimiriza nga mutunuula mu ggulu? Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.”#Mat 26:64, Luk 21:27, 1 Tim 3:16, Kub 1:7
Abayigirizwa badda mu kisenge ekya waggulu
12Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi ng'olugendo olw'oku ssabbiiti.#Luk 24:50-53 13Awo bwe baayingira ne balinnya mu kisenge ekya waggulu,#1:13 Ekisenge ekya waggulu Kino kye kifo kye kimu Yesu gye yagabulira eky'ekiro eky'enkomerero. we baakuŋŋaaniranga, baali: Peetero, Yokaana, Yakobo ne Andereya, Firipo ne Tomasi, Battolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, Simooni omuzerote, ne Yuda omwana wa Yakobo.#Luk 6:13-16 14Abo bonna baali nga banyiikira n'omwoyo gumu mu kusaba, wamu n'abakazi ne Malyamu nnyina Yesu, ne baganda be.#Bik 2:1, Yok 7:3-5, Mat 13:55
Abayigirizwa balonda eyasikira Yuda
15Mu nnaku ezo Peetero n'ayimirira wakati mu b'oluganda abaali bakuŋŋaanye ng'abantu kikumi mu abiri (120), n'agamba nti, 16“Ab'oluganda, kyagwana ekyawandiikibwa kituukiririzibwe, Omwoyo Omutukuvu kye yayogera edda ng'ayita mu kamwa ka Dawudi, ku Yuda, eyali omusaale waabwe abaakwata Yesu;#Zab 41:9, Bik 13:26 17kubanga yabalirwa wamu naffe, n'aweebwa omugabo gw'okuweereza kuno. 18Oyo n'agula ennimiro n'empeera ey'obubi bwe; n'agwa nga yeevuunise, n'ayabikamu wakati, ebyenda byonna ne biyiika.#Mat 27:3-10 19Ne kitegeerekeka eri abo bonna abaali mu Yerusaalemi: ennimiro eyo mu lulimi lwabwe n'okuyitibwa n'eyitibwa Akerudama, amakulu nti, Ennimiro ey'omusaayi. 20Kubanga kyawandiikibwa mu kitabo kya Zabbuli nti,”#Zab 69:25; 109:8
“ ‘Ekibanja kye kizike,
So kireme okubeerangamu omuntu: era nti
Obukulu bwe buweebwe omulala.’”
21“N'olw'ekyo omu ku bantu abaayitanga naffe mu kiseera kyonna Mukama waffe Yesu mweyayingiranga era n'avanga gyetuli, #Yok 15:27 22okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako, omu ku abo abeere omujulirwa w'okuzuukira kwe awamu naffe.” 23Ne balonda babiri, Yusufu ayitibwa Balusaba, n'atuumibwa erinnya Yusito, ne Matiya. 24Ne basaba, ne bagamba nti, “Mukama waffe, ggwe amanyi emitima gy'abantu bonna, lagako omu gw'olonze ku bano bombi,#Yok 2:24,25; 6:70 25aweebwe ekifo ky'okuweereza okwo n'obutume, Yuda bwe yasuula n'agenda mu kifo kye ye.” 26Ne babakubira akalulu; akalulu ne kagwa ku Matiya, n'abalirwa wamu n'abatume ekkumi n'omu (11).#Nge 16:33

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 1: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in