Ebikolwa by'Abatume 18
18
Pawulo mu Kkolinso
1Awo oluvannyuma lw'ebyo Pawulo n'ava mu Asene n'atuuka e Kkolinso. 2Eyo gye yasisinkanira omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n'ajja gye baali;#Bar 16:3 3era kubanga baalina omulimu gwe gumu, nga bakozi ba weema, n'abeeranga nabo, era n'akolanga nabo.#Bik 20:34, 1 Kol 4:12 4N'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro buli ssabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani. 5Era Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo neyemalira ku kubuulira ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo.#Bik 17:14,15 6Naye Abayudaaya bwe batandika okumuwakanya n'okumuvuma, n'akunkumula engoye ze n'abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu, okuva kaakano nnaagenda eri ab'amawanga.”#Bik 13:46,51; 20:26 7Awo Pawulo n'avaayo n'agenda mu nnyumba y'omusajja erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye ng'eriraanye ekkuŋŋaaniro. 8Kulisupo, eyali omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'akkiriza Mukama waffe n'ennyumba ye yonna; n'Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa.#1 Kol 1:14 9Mukama waffe n'agamba Pawulo ekiro mu kwolesebwa nti, “Totya, naye yogeranga, tosirikanga,#1 Kol 2:3 10kubanga nze ndi wamu naawe, so tewali muntu anaakulumbanga okukukola obubi: kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno.”#Yos 1:5,9, Is 41:10; 43:5, Yer 1:8, Kos 2:23, Yok 10:16 11N'amalayo ebbanga lya mwaka n'emyezi mukaaga ng'ayigirizanga ekigambo kya Katonda mu bo.
12Naye Galiyo bwe yali nga ye w'essaza ly'e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n'omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango, 13nga bagamba nti, “ Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etekkirizibwa mu mateeka.” 14Naye Pawulo bwe yali agenda okutandika okuwoza, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti, “ Singa wabaddewo okusobya oba kwonoona kwonna, nanditeekeddwa okubagumiikiriza, mmwe Abayudaaya, #Bik 25:18-20 15naye oba nga ensonga zammwe zikwata ku kubuuzagana kw'ebigambo, n'amannya n'amateeka gammwe, nze saagala kusala musango gw'ebyo.”#Yok 18:31 16N'abagoba awasalirwa emisango. 17Bonna ne bakwata Sossene omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Kyokka era Galiyo teyabafaako. #1 Kol 1:1
Pulisikira ne Akula
18Pawulo n'amalayo ennaku nnyingi endala nate, n'asiibula ab'oluganda n'avaayo n'asaabala ku nnyanja n'agenda e Busuuli, ng'ali wamu ne Pulisikira ne Akula. Naye nga tanasaabala yamala kumwebwa nviiri mu Kenkereya olw'obweyamo bwe yali akoze.#Bik 21:24, Kubal 6:9,18 19Ne batuuka mu Efeso, bali n'abaleka eyo; naye ye yennyini n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'awakana n'Abayudaaya. 20Bwe bamusaba abeere nabo ennaku eziweerako, n'atakkiriza; 21naye n'abasiibula n'agamba nti, “ Ndikomawo nate gye muli Katonda ng'ayagadde.” Bwatyo n'asaabala ku nnyanja n'avaayo mu Efeso.#Bar 1:10, 1 Kol 4:19, Yak 4:15 22N'agoba e Kayisaliya, n'alinnya n'alamusa ab'ekkanisa, n'aserengeta okutuuka Antiyokiya.#Bik 21:15
Olugendo lwa Pawulo olw'Enjiri olwokusatu
(18:23—21:16)
23Bwe yamalayo ebiro si bingi n'avaayo, n'ayitira mu nsi y'e Ggalatiya n'e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonna. 24Awo omuntu Omuyudaaya erinnya lye Apolo eyazaalirwa mu Alegezanderiya, omuntu eyayigirizibwa, oyo n'atuuka mu Efeso, eyali omugezi mu byawandiikibwa.#1 Kol 3:6 25Oyo yali ng'ayigiriziddwa ekkubo lya Mukama waffe, ng'ayaka mu mwoyo n'ayogera n'ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, kyokka ng'amanyi kubatiza kwa Yokaana kwokka. #Bik 19:3, Bar 12:11, Kub 3:15 26N'atandika okwogera n'obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira ne bamutwala mu maka gaabwe ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda. 27Bwe yayagala okuwunguka okutuuka e Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n'abayambanga nnyo abakkiriza olw'ekisa:#2 Kol 3:1, Bak 4:10 28kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g'abantu, ng'ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo.
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 18: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: