YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 17

17
Pawulo mu Ssessaloniika
1Awo batambula ne bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.#1 Bas 2:2 2Awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n'ayingira mu bo, n'amala essabbiiti ssatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa, 3ng'annyonnyola era ng'ategeeza nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti, “ Oyo Yesu nze gwe mbabuulira, ye Kristo.”#Luk 24:26,27,45,46 4Abamu ku bo ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n'Abayonaani abeegendereza ekibiina kinene wamu n'abakazi abakulu mu kibuga ekyo bangi. 5Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya ne batandika akegugungo mu kibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni nga banoonyamu Pawulo ne Siira babatwale mu maaso g'abantu. 6Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu ne babatwala mu maaso g'abakulu ab'omu kibuga nga boogerera waggulu nti, “Bano abavuunika ensi bazze ne wano;#Luk 23:2, Yok 19:12, Bar 16:21 7ne Yasooni yabasembezezza. Bano bonna bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti, Waliwo kabaka omulala, Yesu.” 8Ekibiina n'abakulu ab'omu kibuga bwe baawulira ebyo ne basasamala. 9Bwe baamala okweyimiriza Yasooni ne banne ne babata.
Pawulo e Beroya
10Amangwago ab'oluganda ne basindika kiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya. 11Naye Abayudaaya b'omu Beroya baali balungi okusinga ab'e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n'omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.#Yok 5:39 12Abayudaaya bangi ne bakkiriza, era n'abakazi Abayonaani bangi ab'ekitiibwa n'abasajja nabo ne bakkiriza. 13Naye Abayudaaya ab'e Ssessaloniika bwe baategeera ng'ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo ne mu Beroya, era ne bagendayo ne batabangula ekibiina. #1 Bas 2:14 14Awo amangwago ab'oluganda ne basindika Pawulo okugenda ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya. #Bik 16:1 15Abaawerekera Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, ne bakomawo e Beroya ng'abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy'ali.
Pawulo mu Asene
16Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kujjudde ebifaananyi. 17Awo n'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro n'Abayudaaya n'abaali batya Katonda era ne mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga. 18Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti, “Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono?” Abamu ne bagamba nti, “ Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya,” kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira.#1 Kol 4:12 19Ne bamutwala ne bamuleeta mu Aleyopaago nga bagamba nti, “ Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli? 20Kubanga oleeta ebigambo ebiggya mu matu gaffe: kyetuva twagala okutegeera amakulu g'ebigambo bino.” 21Abaasene bonna n'abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba kuwuliranga ekigambo ekiggya. 22Pawulo n'ayimirira wakati mu Aleyopaago n'agamba nti:
“Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale. 23Kubanga bwe mbadde mpita ne ntunuulira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiddwako nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira. 24Katonda eyakola ensi n'ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi tabeera mu masabo agakolebwa n'emikono,#1 Bassek 8:27, Is 42:5, Mat 11:25, Bik 7:48 25so taweerezebwa mikono gy'abantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n'okussa omukka ne byonna;#Zab 50:12 26yakola okuva ku omu buli ggwanga ly'abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n'ayawulamu ebiro n'ensalo ez'okutuula kwabwe:#Ma 32:8 27banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe:#Is 55:6 28kubanga mu oyo tuba balamu, tutambula, tubeerawo; era ng'abamu ab'ewammwe abayiiya bwe bagamba nti Kubanga era tuli zzadde lye.#Zab 145:18, Bik 19:26, 1 Kol 12:2 29Kale bwe tuli ezzadde lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba ffeeza oba jjinja, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu. 30Kale Katonda ebiro ebyo eby'obutamanya teyabitunuuliranga; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya,#Bik 14:16; 17:23, Luk 24:27 31kubanga yateekawo olunaku lw'agenda okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.”#Zab 9:8; 96:13, Bik 10:42, Bar 10:14
32Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne baŋŋoola; abalala ne bagamba nti, “ Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo.” 33Bwe batyo Pawulo n'abavaamu wakati. 34Naye abasajja abamu ne beegatta naye ne bakkiriza: mu abo Diyonusiyo Omwaleyopaago, n'omukazi erinnya lye Damali n'abalala wamu nabo.

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 17: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in