YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 16

16
Timoseewo yeegatta ku Pawulo ne Siira
1Awo Pawulo n'atuuka e Derube ne Lusitula. Eyo waliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo, omwana w'omukazi Omuyudaaya omukkiriza, naye nga kitaawe Muyonaani;#Bik 17:14; 19:22, 2 Tim 1:5, Baf 2:19-22 2ab'oluganda abaali mu Lusitula ne Ikonio baali bamwogerako bulungi. #Bik 6:3 3Pawulo n'ayagala okugenda ne Timoseewo, n'amutwala n'amukomola olw'Abayudaaya abaali mu bifo ebyo: kubanga bonna baali bamanyi nga kitaawe bw'ali Muyonaani. 4Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babakuutira okukwatanga ebyalagirwa abatume n'abakadde abaali mu Yerusaalemi.#Bik 15:23-29 5Awo ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku.
Okwolesebwa kwa Pawulo
6Awo Pawulo ne banne ne bayita mu nsi y'e Fulugiya ne Ggalatiya, kubanga baagaanibwa Omwoyo Omutukuvu okwogera ekigambo mu Asiya;#Bik 18:23 7bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu Bisuniya, n'Omwoyo wa Yesu n'atabakkiriza; 8ne bayita buyisi e Musiya, ne batuuka e Tulowa. 9Pawulo n'afuna okwolesebwa ekiro, omuntu Omumakedoni ng'ayimiridde era ng'amwegayirira ng'agamba nti, “Jjangu eno ewaffe e Makedoni otuyambe.” 10Bwe yamala okulaba okwolesebwa, amangwago ne tusala amagezi okusitula okugenda e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atuyise okubabuulira Enjiri.
Okukyuka kwa Ludiya mu Firipi
11Awo ne tusaabala okuva e Tulowa ne tukwata ekkubo eggolokofu okutuuka e Samoserakiya, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Neyapoli; 12ne tuvaayo okutuuka e Firipi, ekibuga ekikulu eky'e Makedoni ekisookerwako mu njuyi ezo, ekyazimbibwa Abaruumi: ne tubeera mu kibuga omwo ne tulwamu ennaku. 13Awo ku lunaku lwa ssabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okugenda ku mugga bwe twalowooza nga yaliyo ekifo eky'okusabirangamu: ne tutuula ne twogera n'abakazi abaakuŋŋaana. 14Awo omukazi erinnya lye Ludiya, omutunzi w'engoye ez'effulungu, wa mu kibuga Suwatira, eyasinzanga Katonda, n'atuwulira: Mukama waffe n'amubikkula omutima gwe n'asaayo omwoyo kw'ebyo Pawulo bye yayogera.#Yok 6:44 15Bw'atyo bwe yabatizibwa n'ab'omu nnyumba ye bonna, n'atwegayirira ng'agamba nti, “ Oba nga munsiimye okuba omwesigwa eri Mukama waffe, muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo.” N'atuwaliriza.
Pawulo ne Siira basibwa mu Kkomera
16Awo olwatuuka bwe twali tugenda wali awaasabirwanga, ne tusisinkana omuwala eyaliko omwoyo ogulagula, eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula.#Bik 19:24 17Oyo bwe yagoberera Pawulo naffe n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “Abantu bano baddu ba Katonda Ali waggulu ennyo, abababuulira ekkubo ery'obulokozi.”#Mak 1:24,34 18N'akolanga bw'atyo ennaku nnyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwala ennyo, n'akyuka n'agamba dayimooni nti, “ Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo muveeko.” N'amuvaako mu kiseera ekyo.#Bik 19:13, Mak 16:17
19Naye bakama be bwe baalaba ng'essuubi ly'ebintu byabwe liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu, 20ne babatwala eri abalamuzi ne bagamba nti, “Abasajja bano Abayudaaya basasamaza nnyo ekibuga kyaffe, #Bik 17:6, 1 Bassek 18:17 21bayigiriza empisa ezitakkirizibwa ffe Abaruumi okukwata oba okukola.” 22Ekibiina ne kibagolokokerako wamu: abalamuzi ne babayuliza engoye zaabwe, ne balagira okubakuba emiggo.#2 Kol 11:25, Baf 1:30, 1 Bas 2:2 23Bwe baabakuba emiggo emingi ne babasindika mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo: 24oyo bwe yalagirwa bw'atyo n'abateekera ddala mu kkomera ery'omunda, n'ebigere byabwe n'abissa mu nvuba.
25Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali basaba, era nga bwe bayimbira Katonda, nga n'abasibe abalala bawuliriza, 26amangwago ne wabaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'ekkomera ne gikankana. Amangwago enzigi zonna ne zigguka; n'ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka. 27Omukuumi w'ekkomera n'azuukuka, bwe yalaba enzigi z'ekkomera nga zigguse n'asowola ekitala kye n'agenda okwetta, kubanga ng'alowooza nti abasibe babombye. 28Naye Pawulo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba nti, “Teweekola kabi: kubanga fenna tuli wano.” 29N'asaba ettaala, n'ayanguwa n'ayingira munda mu kkomera, n'agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira, ng'akankana, 30n'abafulumya ebweru n'agamba nti, “ Bassebo, kiŋŋwanidde kukola ki okulokolebwa?”#Bik 2:37 31Ne bagamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n'ennyumba yo.” 32Ne bamubuulira ekigambo kya Mukama waffe ne bonna abaali mu nnyumba ye. 33N'abatwala mu kiseera ekyo ekiro n'abanaaza ebiwundu. Amangwago n'abatizibwa ye n'ennyumba ye yonna. 34N'abatwala mu nnyumba ye, n'abawa emmere, n'asanyuka nnyo n'ennyumba ye yonna ng'akkirizza Katonda.
35Naye bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma basserikale baabwe nga bagamba nti, “Musumulule abantu abo.” 36Omukuumi w'ekkomera n'abuulira Pawulo ebigambo ebyo nti Abalamuzi batumye okubasumulula: kale kaakano mufulume, mugende n'emirembe. 37Naye Pawulo n'abagamba nti, “ Batukubidde mu maaso g'abantu nga tetunnasalirwa musango, nga tuli bantu Baruumi, ne batusindiikiriza mu kkomera; ne kaakano batuggyamu kyama? Nedda; naye bajje bennyini batufulumye.”#Bik 22:25 38Abasserikale ne babuulira abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawulira nga Baruumi: 39ne bajja ne babeegayirira, ne babafulumya, ne baagala bave mu kibuga.#Mat 8:34 40Ne bafuluma mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Ludiya, ne balaba ab'oluganda ne babagumya ne bagenda.

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 16: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in