YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 15

15
Olukiiko lw'ekkanisa e Yerusaalemi
(15:1-35)
1Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne bayigiriza ab'oluganda nti, “ Bwe mutaakomolebwenga ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.”#Bag 5:2 2Bwe waali empaka ennyingi n'okwawukana kw'endowooza wakati wa Pawulo ne Balunabba, ku luuyi olumu, n'abo abaava e Buyudaaya, ne balagira Pawulo ne Balunabba n'abalala ku bo okugenda e Yerusaalemi eri abatume n'abakadde olw'empaka ezo.#Bik 11:30, Bag 2:1 3Awo abo bwe baamala okusibirirwa ab'ekkanisa ne bayita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga bannyonnyolera ddala okukyuka kw'ab'amawanga: ne basanyusiza ddala ab'oluganda bonna. 4Bwe baatuuka e Yerusaalemi, ab'ekkanisa n'abatume n'abakadde ne babasembeza, ne babuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo.#Bik 14:27 5Naye ne bagolokoka abamu ab'omu kitundu ky'Abafalisaayo abakkiriza, nga bagamba nti, “ Kigwana okubakomolanga n'okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa.”
6Abatume n'abakadde ne bakuŋŋaana okwetegereza ekigambo ekyo. 7Bwe waali okwawukana kw'endowooza kungi, Peetero n'ayimirira n'abagamba nti, “Abasajja ab'oluganda, mmwe mumanyi nti okuva mu nnaku ez'edda Katonda yalonda mu mmwe ab'amawanga bawulire mu kamwa kange ekigambo eky'Enjiri ne bakkiriza. 8Ne Katonda amanyi emitima n'abategeeza bwe yabawa Omwoyo Omutukuvu era nga ffe; 9n'atayawula ffe nabo, bwe yalongoosa emitima gyabwe olw'okukkiriza.#Bik 10:34 10Kale kaakano mukemera ki Katonda, okuteeka ekikoligo mu bulago bw'abayigirizwa bajjajjaffe kye bataayinza kutwala newakubadde ffe?#Bag 3:10; 5:1, Mat 11:30 11Naye tukkiriza okulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era nabo bwe batyo.”#Bag 2:16, Bef 2:4-10
12Ekibiina kyonna ne kisirika; ne bawulira Balunabba ne Pawulo nga bannyonnyola obubonero n'eby'amagero byonna Katonda bye yabakozanga mu mawanga. 13Abo bwe baamala okusirika Yakobo n'addamu ng'agamba nti:#Bik 21:18, Bag 2:9 “Abasajja ab'oluganda, mumpulire. 14Simyoni annyonnyodde Katonda bwe yasooka okutunuulira amawanga okuggiramu erinnya lye abantu.#Bik 15:7-9, Luk 1:68 15Ebigambo bya bannabbi bitabagana n'ebyo nga bwe kyawandiikibwa nti,”#Am 9:11,12
16“‘Oluvannyuma lw'ebyo ndikyuka,
Ndizimba nate eweema ya Dawudi eyagwa;
Okumenyeka kwayo ndikuzimba nate,
Era ndigigolokosa: #Yer 12:15
17Abantu abasigalawo banoonye Mukama,
N'amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange ku bo,
18Bw'ayogera Mukama,
ategeeza ebyo byonna okuva ku lubereberye lw'ensi.’ ”#Is 45:21
19“Kyenva nsalawo tuleme okuteganya abava mu mawanga okukyukira Katonda; 20Naye tubawandiikire beewalenga obugwagwa bw'ebifaananyi, n'obwenzi, n'ebitugiddwa, n'omusaayi.#Lub 9:4, Leev 3:17; 5:2; 17:10 21Kubanga okuva edda Musa alina mu buli kibuga abamubuulira, ng'asomebwa mu makuŋŋaaniro buli ssabbiiti.”#Bik 13:15
Ebbaluwa okuva mu lukiiko eri ab'amawanga abakkiriza
22Awo ne bakisiima abatume n'abakadde wamu n'ekkanisa yonna okulonda abantu mu bo n'okubatuma e Antiyokiya ne Pawulo ne Balunabba; Yuda ayitibwa Balusaba ne Siira, abantu abakulu mu b'oluganda: 23ne bawandiika ne bagikwasa mu mikono gyabwe nti, “ Abatume n'ab'oluganda abakadde tulamusizza ab'oluganda abali mu Antiyokiya ne Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga: 24kubanga tuwulidde nti Abantu abaava ewaffe baabasasamaza n'ebigambo nga bakyusa emmeeme zammwe, be tutalagiranga;#Bik 15:1 25tusiimye, bwe tutabaganye n'omwoyo gumu, okulonda abantu okubatuma gye muli wamu n'abaagalwa baffe Balunabba ne Pawulo, 26abantu abaasingawo obulamu bwabwe olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo. 27Kyetuvudde tutuma Yuda ne Siira era abalibabuulira obumu bennyini n'akamwa. 28Kubanga Omwoyo Omutukuvu yasiima naffe tuleme okubatikka omugugu omunene gwonna wabula bino ebigwana,#Mat 23:4 29okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n'omusaayi, n'ebitugiddwa, n'obwenzi: bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba.”
30Awo bo bwe baasindikibwa ne bajja e Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ne babakwasa ebbaluwa. 31Bwe baasoma ne basanyuka olw'okubuulirirwa okwo. 32Yuda ne Siira, kubanga nabo baali bannabbi, ne babuulirira ab'oluganda mu bigambo bingi, ne babagumya.#Bik 11:27; 13:1 33Bwe baamalayo ebiro, ne basiibulwa ab'oluganda n'emirembe okuddayo eri abaabatuma. 34Naye Siira yasiima okusigalayo. 35Naye Pawulo ne Balunabba ne balwayo mu Antiyokiya nga bayigirizanga era nga babuuliranga ekigambo kya Mukama waffe wamu n'abalala bangi era.
Olugendo lwa Pawulo olw'Enjiri olwokubiri
(15:36—18:22)
Pawulo ne Balunabba baawukana
36Ennaku bwe zaayitawo Pawulo n'agamba Balunabba nti, “ Kale tuddeyo tulambule ab'oluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo kya Mukama waffe, tulabe nga bwe bali.”#1 Bas 3:5 37Balunabba era n'ayagala okutwala Yokaana erinnya lye eryokubiri Makko:#Bik 12:12,25 38naye Pawulo teyasiima kumutwala oyo eyabaleka mu Panfuliya n'atagenda nabo ku mulimu.#Bik 13:13, Bak 4:10 39Ne wabaawo empaka nnyingi n'okwawukana ne baawukana, Balunabba n'atwala Makko n'awanika amatanga okugenda e Kupulo;#Bik 4:36; 13:4 40naye Pawulo n'alonda Siira, n'avaayo, ab'oluganda bwe baamusigira ekisa kya Mukama waffe. 41N'ayita mu Busuuli ne Kirukiya ng'agumya ekkanisa.

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 15: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in