YouVersion Logo
Search Icon

Ebikolwa by'Abatume 14

14
Pawulo ne Balunabba mu Ikonio
1Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamu mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n'okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n'Abayonaani. 2Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab'amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab'oluganda.#Bik 13:45
3Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe.#Bik 19:11, Mak 16:20, Beb 2:4 4Naye ekibiina eky'omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya abamu ku ludda lw'abatume. 5Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja,#Bik 14:19, 2 Tim 3:11 6bwe baategeera ne baddukira mu bibuga eby'e Lukaoniya, Lusitula ne Derube n'ensi eriraanyeewo:#Mat 10:23 7ne babeera eyo nga babuulira Enjiri.#Bik 11:19,20
Pawulo ne Balunabba mu Lusitula ne Derube
8Mu Lusitula yaliyo omuntu nga talina maanyi mu bigere n'abeeranga awo, mulema okuva mu lubuto lwa nnyina nga tatambulangako n'akatono.#Bik 3:2; 9:33, Yok 9:1 9Oyo n'awulira Pawulo ng'ayogera: naye n'amwekaliriza amaaso n'alaba ng'alina okukkiriza okulokoka,#Bik 3:4, Mat 9:28 10n'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “ Yimirira ku bigere byo, weegolole. N'abuuka n'atambula.” 11Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky'akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti, “ Bakatonda basse gyetuli nga bafaanana abantu.”#Bik 28:6 12Balunabba ne bamuyita Zewu; ne Pawulo ne bamuyita Kerume, kubanga ye yasinga okwogera. 13Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule ez'ebimuli okutuuka ku luggi ng'ayagala okuwaayo ssaddaaka n'ebibiina. 14Naye abatume Balunabba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza engoye zaabwe ne bafubutuka ne bagenda mu kibiina, nga boogerera waggulu 15nga bagamba nti, “ Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebintu byonna ebirimu:#Kuv 20:11, Zab 146:6, Is 37:16, Yer 32:17, Yak 5:17 16mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okutambuliranga mu makubo gaago:#Bik 17:30 17naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng'abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n'ebiro eby'okubalirangamu emmere, ng'ajjuzanga emitima gyammwe emmere n'essanyu.”#Zab 147:8, Yer 5:24 18Bwe baayogera ebyo, ne baziyiza ebibiina lwa mpaka okubawa ssaddaaka.
19Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.#2 Kol 11:25, 2 Tim 3:11 20Naye abayigirizwa bwe baamwetoolola n'ayimirira n'ayingira mu kibuga: ku lunaku olwokubiri n'agenda ne Balunabba okutuuka e Derube. 21Bwe baamala okubuulira Enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya,#Mat 28:19 22nga banyweza emmeeme z'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw'okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.#Bik 11:23, 1 Bas 3:3, Mat 7:14 23Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza.#Bik 13:3 24Ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya. 25Bwe baamala okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya; 26ne bavaayo ne bawunguka ne batuuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukiriza.#Bik 13:1,2 27Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab'amawanga oluggi olw'okukkiriza.#1 Kol 16:9, Bik 11:18 28Ne bamalayo ebiro bingi wamu n'abayigirizwa.

Currently Selected:

Ebikolwa by'Abatume 14: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in