Ebikolwa by'Abatume 13
13
Olugendo lwa Pawulo olwasooka olw'Enjiri : Mu Kupulo ne Ggalatiya
(13:1—14:28)
Balunabba ne Sawulo batumibwa okubuulira Enjiri
1Mu kkanisa y'omu Antiyokiya yaliyo bannabbi n'abayigiriza, Balunabba ne Simyoni eyali ayitibwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni eyayonsebwa awamu ne Kerode owessaza, ne Sawulo.#Bik 11:27 2Nga baweereza Mukama waffe n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'agamba nti, “ Munnondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde.” #Bik 9:19 3Awo ne basiiba ne basaba ne babassaako emikono ne babatuma.#Bik 6:6; 14:23, 1 Tim 4:14; 5:22
4Awo abo bwe baatumibwa Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawunguka okulaga e Kupulo.#Bik 15:39 5Bwe baali mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya: ne babeera ne Yokaana okubaweereza.#Bik 12:12,15; 13:13 6Bwe baayita ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne balaba omuntu omulogo, nnabbi ow'obulimba, Omuyudaaya, erinnya lye Balisa; 7eyali awamu n'owessaza Omuruumi Serugiyo Pawulo, omuntu ow'amagezi. Oyo n'ayita Balunabba ne Sawulo, n'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. 8Naye Eruma omulogo, kubanga erinnya lye bwe livvuunulwa, n'awakana nabo, ng'ayagala okukyamya owessaza mu kukkiriza.#2 Tim 3:8 9Naye Sawulo, era ye Pawulo, bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, bwe yamwekaliriza amaaso, 10n'agamba nti, “ Ggwe ajjudde obukuusa bwonna n'okukola obubi kwonna, omwana wa Setaani, omulabe w'obutuukirivu bwonna, tolireka kukyamya makubo ga Mukama waffe amagolokofu?#Kos 14:9 11Kaakano, laba, omukono gwa Mukama waffe guli ku ggwe, onooba muzibe wa maaso nga tolaba njuba ebiro bingiko.” Amangwago ekifu ne kimugwako, n'enzikiza; n'awammanta n'anoonya abantu ab'okumukwata ku mukono.#Bik 9:8, Yok 9:39 12Awo owessaza bwe yalaba bwe kibadde n'akkiriza nga yeewuunya nnyo okuyigiriza kwa Mukama waffe.
Pawulo ne Balunabba mu Antiyokiya eky'e Pisidiya
13Awo Pawulo ne banne ne basaabala okuva mu Pafo, ne batuuka e Peruga eky'e Panfuliya: Yokaana n'abalekayo n'addayo e Yerusaalemi.#Bik 12:12,25; 15:18 14Naye bo bwe baayita okuva mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'e Pisidiya, ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ku lunaku lwa ssabbiiti ne batuula. 15Bwe baamala okusoma amateeka n'ebya bannabbi, abakulu b'ekkuŋŋaaniro ne babatumira nga bagamba nti, “ Abasajja ab'oluganda, oba mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere.”#Bik 15:21 16Pawulo n'ayimirira n'abawenya n'omukono n'agamba nti: “Abasajja Abaisiraeri, nammwe abatya Katonda, muwulire. 17Katonda w'abantu bano Abaisiraeri yalonda bajjajjaffe, n'agulumiza abantu bwe baali abagenyi mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogwagulumizibwa.#Is 1:2, Kuv 6:1,6; 12:37,41; 14:8 18N'abagumiikiriza mu ddungu emyaka ng'ana (40).#Kuv 16:35, Kubal 14:34, Ma 1:31 19Bwe yazikiriza amawanga omusanvu mu nsi ya Kanani, n'abawa ensi yaabwe okuba obutaka okutuusa emyaka bina mu ataano (450).#Ma 7:1, Yos 14:2 20Oluvannyuma lw'egyo n'abawa abalamuzi okutuuka ku nnabbi Samwiri.#Balam 2:16, 1 Sam 3:20 21Oluvannyuma ne baagala kabaka; Katonda n'abawa Sawulo omwana wa Kiisi wa mu kika kya Benyamini, n'amala emyaka ana (40).#1 Sam 8:5; 10:21,24 22Bwe yamuggyaawo oyo, n'abayimiririza Dawudi okuba kabaka waabwe, gwe yayogerako ng'amutegeeza nti, ‘Ndabye Dawudi, omwana wa Yese, omuntu ali ng'omutima gwange bwe gwagala, anaakolanga bye njagala byonna.’#Zab 89:20, Is 44:28, 1 Sam 13:14; 16:12,13 23Oyo mu zzadde lye nga Katonda bwe yasuubiza, aleetedde Isiraeri Omulokozi Yesu,#2 Sam 7:12, Is 11:1 24Yokaana bwe yasooka okubuulira nga tannaba kujja okubatizibwa okw'okwenenya eri abantu bonna Abaisiraeri.#Luk 3:3 25Naye Yokaana bwe yali anaatera okukomya olugendo lwe, n'agamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Naye laba, waliwo ajja oluvannyuma lwange gwe ssisaanira kusumulula ngatto ya mu kigere kye.’ ”#Yok 1:20,27, Luk 3:16, Mak 1:7
26“Ab'oluganda, abaana b'ekika kya Ibulayimu, nammwe mwenna abatya Katonda, ekigambo eky'obulokozi buno kyaweerezebwa waffe.#Zab 107:20, Bik 13:46 27Kubanga abatuula mu Yerusaalemi n'abakulu baabwe bwe bataamumanya oyo newakubadde amaloboozi ga bannabbi agasomebwa buli ssabbiiti, kyebaava babituukiriza bwe baamusalira omusango. 28Bwe bataalaba nsonga ya kumutta, ne basaba Piraato okumutta.#Mat 27:22,23 29Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako ne bamuwanula ku muti ne bamuteeka mu ntaana.#Mat 27:59,60 30Naye Katonda n'amuzuukiza mu bafu:#Bik 3:15 31n'abalabikira ennaku nnyingi abaayambuka naye okuva e Ggaliraaya okutuuka e Yerusaalemi, be bajulirwa be kaakano eri abantu.#Bik 1:3 32Ffe tubabuulira ebigambo ebirungi, eby'okusuubiza okwasuubizibwa bajjajja#Bik 13:23 33nti Katonda akutuukirizza eri abaana baffe bwe yazuukiza Yesu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyokubiri nti,”
“ ‘Ggwe mwana wange,
nkuzadde leero.’ ”#Zab 2:7, Beb 1:5; 5:5
34“Era kubanga yamuzuukiza mu bafu nga tagenda nate kuddayo mu kuvunda, yagamba bw'ati nti,”
“ ‘Ndibawa emikisa emitukuvu era egyenkalakkalira egya Dawudi.’ ”#Is 55:3
35Kubanga yayogera ne mu Zabbuli endala nti,
“‘Toliwaayo Mutukuvu wo okuvunda.’ ”#Bik 2:27, Zab 16:10
36“Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza mu biro bye nga Katonda bwe yateesa, naafa n'ateekebwa eri bajjajjaabe, n'avunda:#1 Bassek 2:10, Balam 2:10, Bik 2:29 37naye oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda. 38Kale, abasajja ab'oluganda, mutegeere nti ku bw'oyo okuggyibwako ebibi kubuuliddwa;#Bik 10:43, Kubal 15:30, Beb 9:9; 13:20 39byonna bye mutandiyinzizza kuggibwako mu mateeka ga Musa, ku bw'oyo buli akkiriza abiggibwako.#Bar 10:4 40Kale mwekuume kireme okujja ku mmwe ekyayogerwa bannabbi nti,”#Kaab 1:5
41“ ‘Laba, mmwe abanyooma, mwewuunye, mubule;
Kubanga nze nkola omulimu mu nnaku zammwe
Omulimu gwe mutalikkiriza newakubadde omuntu ng'agubabuulidde nnyo.’”
42Bwe baafuluma ne babeegayirira okubabuulira ebigambo bino ku ssabbiiti eyokubiri. 43Ekibiina bwe kyasaasaana bangi ku Bayudaaya n'abakyufu abeegendereza ne bagoberera Pawulo ne Balunabba: nabo ne boogera nabo ne babasendasendanga okunyiikirira mu kisa kya Katonda.#Bik 11:23
44Awo ku ssabbiiti eyokubiri ne bakuŋŋaana kumpi kibuga kyonna okuwulira ekigambo kya Katonda. 45Naye Abayudaaya bwe baalaba ekibiina, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, nga babivuma.#Bik 13:50; 14:2 46Pawulo ne Balunabba ne boogera n'obuvumu nti, “ Kyagwana okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda mu mmwe. Kubanga mukisindiikiriza so temweraba kusaanira bulamu obutaggwaawo, laba, tukyukira eri ab'amawanga.”#Bik 3:26; 18:6, Mat 10:6, Luk 7:30 47Kubanga Mukama yatulagira bw'ati nti,
“‘Nkuteeseewo okubanga omusana gw'amawanga,
Obeerenga obulokozi okutuusa ku nkomerero y'ensi.’”#Is 49:6
48Ab'amawanga bwe baawulira ne basanyuka ne bagulumiza ekigambo kya Katonda: bonna ne bakkiriza abaali baterekeddwa obulamu obutaggwaawo.#Bik 11:18, Bar 8:29 49Ekigambo kya Mukama waffe ne kibuna mu nsi eri yonna. 50Naye Abayudaaya ne babaweerera abakyala abeegendereza ab'ekitiibwa, n'abakulu ab'omu kibuga, ne bayigganyisa Pawulo ne Balunabba, ne babagoba mu mbibi zaabwe. 51Naye ne babakunkumulira enfuufu ey'omu bigere ne bajja okutuuka Ikoniyo.#Bik 18:6, Mat 10:14 52Abayigirizwa ne bajjula essanyu n'Omwoyo Omutukuvu.
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 13: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: