Ebikolwa by'Abatume 12
12
Malayika aggya Peetero mu kkomera
1Mu biro ebyo kabaka Kerode n'atandika okuyigganya abamu ab'omu kkanisa.#Bik 4:3 2N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yokaana. 3Awo bwe yalaba nga Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera okukwata ne Peetero mu nnaku ez'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. 4Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga (16) okumukuuma kinnabana, ng'ayagala okumutwala mu maaso g'abantu Okuyitako nga kuwedde. 5Awo Peetero n'akuumirwa mu kkomera: naye ab'ekkanisa ne banyiikiranga okumusabira eri Katonda.#Yak 5:16 6Ku lunaku Kerode lwe yali ayagala okumutwalayo, mu kiro ekyo Peetero yali nga yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, abakuumi baali ku luggi nga bakuuma ekkomera.#Bik 5:22,23
7Laba, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n'akuba Peetero mu mbiriizi n'amuzuukusa ng'agamba nti, “ Yimuka mangu.” Enjegere ne ziva ku mikono ne zigwa. #Bik 5:19 8Malayika n'amugamba nti, “ Weesibe, oyambale engatto zo.” N'akola bw'atyo. N'amugamba nti, “ Yambala ekyambalo kyo, ongoberere.” 9N'afuluma, n'amugoberera; so teyamanya nga bya mazima malayika by'akoze, naye yalowooza nti alabye kwolesebwa. 10Bwe baayita ku bakuumi abaasookerwako n'abokubiri ne batuuka ku luggi olw'ekyuma oluyitibwako okutuuka mu kibuga: ne lubaggukirawo lwokka: ne bafuluma ne bayita mu kkubo limu; amangwago malayika n'amuleka. 11Peetero bwe yeddamu n'agamba nti, “ Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n'anzigya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw'eggwanga ly'Abayudaaya.” 12Bwe yalowooza n'ajja mu nnyumba ya Malyamu eyali nnyina Yokaana erinnya lye eryokubiri Makko, mwe baali bakuŋŋaanidde abangi nga basaba.#Bik 12:25; 15:37 13Peetero bwe yakonkona ku luggi olw'omu mulyango omuzaana n'ajja okuyitaba, erinnya lye Looda. 14Bwe yategeera eddoboozi lya Peetero n'ataggulawo luggi olw'essanyu, naye n'addayo mangu n'agamba nti, “ Peetero ayimiridde ebweru ku luggi.” 15Ne bamugamba nti, “ Olaluse.” Naye n'akaliriza nti Weewaawo. Ne bagamba nti Ye malayika we.#Bik 26:24, Luk 24:37 16Naye Peetero ne yeeyongera okukonkona: awo bwe baggulawo ne bamulaba ne basamaalirira. 17Naye bwe yabawenya n'omukono okusirika, n'ababuulira Mukama waffe bw'amuggye mu kkomera. N'agamba nti, “ Mubuulire ebyo Yakobo n'ab'oluganda.” N'avaayo n'agenda mu kifo awalala. 18Awo bwe bwakya enkya, basserikale ne beegugumula nnyo nti, “ Peetero nno abadde ki?”#Bik 5:21,22 19Kerode bwe yamunoonya n'atamulaba n'abuuliriza abakuumi n'alagira okubatta. N'ava mu Buyudaaya okugenda e Kayisaliya n'atuula eyo.
20N'asunguwalira nnyo ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne bajja gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagana ne Bulasito omukulu w'omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa bya mu nsi ya kabaka.#1 Bassek 5:9,11, Ez 27:17 21Awo ku lunaku olwalagaanyizibwa Kerode n'ayambala ebyambalo eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe, n'abagamba ebigambo. 22Abantu bonna ne boogerera waggulu nti, “ Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu.” #Ez 28:2 23Amangwago malayika wa Mukama n'amukuba, kubanga tawadde Katonda kitiibwa: n'aliibwa envunyu, n'afa.#Dan 5:20
24Naye ekigambo kya Katonda ne kikula ne kyeyongeranga.#Bik 6:7, Is 55:11
25Balunabba ne Sawulo ne bakomawo okuva e Yerusaalemi, bwe baamala okutuukiriza okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana erinnya lye eryokubiri Makko.#Bik 11:29; 12:12; 15:37
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 12: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: