Ebikolwa by'Abatume 11
11
Peetero annyonnyola Abayudaaya ku by'Abamawanga
1Abatume n'ab'oluganda abaali mu Buyudaaya ne bawulira nga ab'amawanga nabo bakkirizza ekigambo kya Katonda. 2Awo Peetero bwe yayambuka e Yerusaalemi, bali abakomole ne bawakana naye#Bik 10:45 3nga bagamba nti, “Lwaki wagenda mu bantu abatali bakomole n'olya nabo?”#Bag 2:12 4Awo Peetero n'atandika okubannyonnyola kinnakimu ng'agamba nti, 5“Nze nnali mu kibuga Yopa nga nsaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne ndaba mu kwolesebwa ekintu nga kikka ng'essuuka ennene, nga kikwatiddwa ku nsonda nnya okussibwa nga kiva mu ggulu, ne kinjijira:#Bik 10:9-48 6bwe nneekaliriza amaaso ne ndowooza ne ndaba ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'ebyewalula n'ennyonyi ez'omu bbanga. 7Era ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘ Peetero, yimirira osale olye.’ 8Naye ne ŋŋamba nti, ‘ Nedda, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo newakubadde ekitali kirongoofu tekiyingiranga mu kamwa kange n'akatono.’ 9Naye eddoboozi ne linziramu omulundi ogwokubiri nga liva mu ggulu nti, ‘ Katonda kyalongooseza tokifuulanga ggwe kya muzizo.’ 10Ne kiba bwe kityo emirundi esatu; byonna ne birinnyisibwa nate mu ggulu. 11Kale, laba, amangwago abantu basatu baali nga bayimiridde mu maaso g'ennyumba mwe twali, abaatumibwa gye ndi okuva e Kayisaliya. 12Omwoyo n'aŋŋamba okugenda nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne bagenda nange, ne tuyingira mu nnyumba y'oli; 13n'atubuulira bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde ng'agamba nti, ‘ Tuma e Yopa oyite Simooni erinnya lye eryokubiri Peetero; 14alikubuulira ebigambo ebirikulokola ggwe n'ennyumba yo yonna.’ 15Bwe nnali kye njije ntandike okwogera, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako era nga bwe yasookera ku ffe. 16Ne njijukira ekigambo kya Mukama waffe bwe yayogera nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu.’#Bik 1:5 17Kale Katonda oba nga abawadde ekirabo ekyo nga ffe okwenkanankana, bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze nnali ani eyandiyinzizza okuziyiza Katonda?” 18Bwe baawulira ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “ Kale Katonda awadde n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu.”#Bik 13:48; 14:27
Ekkanisa mu Antiyokiya: Abayigirizwa bayitibwa abakristaayo
19N'abo abaasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu mulala wabula Abayudaaya bokka.#Bik 8:1-4 20Naye waaliwo abantu mu bo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuuka mu Antiyokiya bo ne boogera n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waffe Yesu. 21N'omukono gwa Mukama waffe gwali nabo: ekibiina kinene eky'abakkiriza ne bakyukira Mukama waffe.#Bik 2:47 22Ekigambo ekyo ne kiwulirwa okutuuka mu matu g'ekkanisa eyali mu Yerusaalemi; ne batuma Balunabba okutuuka mu Antiyokiya:#Bik 4:36 23naye bwe yamala okutuuka n'alaba ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonna nti, “ Mumalirire mu mutima okwekwata ku Mukama waffe.”#Bik 13:43 24Kubanga yali muntu mulungi, n'ajjula Omwoyo Omutukuvu n'okukkiriza. Ekibiina kinene ne kireetebwa eri Mukama waffe.#Bik 5:14; 6:5 25N'avaayo okugenda e Taluso okunoonya Sawulo,#Bik 9:30 26bwe yamala okumulaba n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuuka ne bamala mwaka mulamba nga bakuŋŋaana n'ekkanisa ne bayigiriza ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okuyitibwa Abakristaayo mu Antiyokiya.#Bag 2:11, Bik 26:28, 1 Peet 4:16
27Mu nnaku ezo bannabbi ne bava e Yerusaalemi okutuuka Antiyokiya.#Bik 13:1; 15:32 28N'ayimirira omu ku bo, erinnya lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Waliba enjala nnyingi mu nsi zonna: nayo yabaawo ku mirembe gya Kulawudiyo.#Bik 21:10 29Abayigirizwa, buli muntu nga bwe yalina ebintu, ne bateesa okuweereza ab'oluganda abaali batuula e Buyudaaya:#Bag 2:10 30n'okukola ne bakola bwe batyo ne baweereza abakadde mu mukono gwa Balunabba ne Sawulo.#Bik 12:25
Currently Selected:
Ebikolwa by'Abatume 11: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: