YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso 6

6
Abakkiriza babe n'amagezi okusala ensonga zaabwe bokka
1Omuntu yenna mu mmwe bw'aba n'ensonga ku munne, ayaŋŋaanga okuwoleza ensonga abatali batuukirivu, so si eri abatukuvu? 2Oba temumanyi ng'abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale oba nga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga entono eziri mu mmwe? #Kub 3:21, Dan 7:22 3Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango? Tulemwa tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno? 4Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, lwaki mugitwala eri abo abanyoomebwa mu kkanisa? 5Njogera kino kubaswaza. Ddala mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga, 6naye ow'oluganda awoze n'ow'oluganda, era ne mu maaso gaabo abatali bakkiriza? 7Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?#Mat 5:39, 1 Bas 5:15, 1 Peet 3:9 8Naye mmwe mwennyini mukola bubi, mulyazaamaanya, era n'ab'oluganda. 9Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, 10newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.#Bag 5:19-21 11Era abamu ku mmwe mwali ng'abo, era mwanaazibwa, era mwatukuzibwa, era mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe.#Tit 3:3-7
Emibiri gy'abakkiriza si gya bwenzi
12“Ebintu byonna birungi gye ndi,” naye byonna tebingasa. “Byonna birungi gye ndi,” naye nze sigenda kufugibwanga kintu kyonna.#1 Kol 10:23 13“Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya,” naye byombi Katonda alibiggyawo. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri.#1 Bas 4:3-5 14Era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.#1 Kol 15:15,20, 2 Kol 4:14, Bar 8:11 15Temumanyi ng'emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Kale nzirirenga ebitundu bya Kristo mbifuule bitundu by'omwenzi? Kitalo!#1 Kol 12:27 16Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? Kubanga ayogera nti, “Bombi banaafuuka omubiri gumu.”#Lub 2:24 17Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo. #Yok 17:21,22, Bef 5:30, 2 Kol 3:17 18Mwewalenga obwenzi. Buli kibi kyonna omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye. 19Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye Yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? Nammwe temuli ku bwammwe;#1 Kol 3:16 20kubanga mwagulibwa na muwendo, kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe.#1 Peet 1:18,19, 1 Kol 7:23, Baf 1:20

Currently Selected:

1 Abakkolinso 6: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in