1 Abakkolinso 5
5
Abakkiriza okuva mu bibi
(5:1—6:20)
Obwenzi tebuteekwa nakatono kuba mu bakkiriza
1Ddala kigambibwa nti mulimu obwenzi mu mmwe, ate obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawanga; omuntu okubeera ne muka kitaawe.#Leev 18:7,8 2Nammwe mwegulumizizza! So temwandinakuwadde bunakuwazi ? Oyo eyakola ekikolwa ekyo mu muggye wakati mu mmwe. 3Newakubadde siri nammwe mu mubiri, ndi nammwe mu mwoyo, mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona bw'atyo.#Bak 2:5 4Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye nange nga ndi nammwe mu mwoyo n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe, #Mat 16:19; 18:18, 2 Kol 13:10 5mumuweeyo omuntu ng'oyo eri Setaani omubiri guzikirizibwe, omwoyo gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.#1 Tim 1:20, 1 Peet 4:6 6Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Tetumanyi ng'ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?#Bag 5:9 7Muggyemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga Kristo, y'endiga y'Okuyitako kwaffe eyattibwa. #Kuv 12:21; 13:7, Is 53:7, 1 Peet 1:19 8Kale tufumbe embaga, eteriimu kizimbulukusa eky'edda, eky'ettima n'obubi, wabula tulye omugaati ogutalimu kizimbulukusa, ogwo bwesimbu n'amazima.
9Nnabawandiikira mu bbaluwa yange obuteegattanga na benzi; 10so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi, kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi.#Bag 5:19-21 11Naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye.#Tit 3:3-7 12Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Naye abo ab'omu nnyumba si be musaana okusalira omusango? #1 Kol 10:23 13Naye ab'ebweru Katonda y'abasalira omusango. Omubi oyo mu muggye mu mmwe.#1 Bas 4:3-5
Currently Selected:
1 Abakkolinso 5: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: