1 Abakkolinso 7
7
Pawulo ayanukula ensonga ezamuwandiikirwa mu bbaluwa eyava mu Kkolinso
(7:1—11:1)
Abafumbo okusanyusagana mu kukkaanya
1Kaakano ku ebyo bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. 2Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne bba. 3Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira ng'omufumbo, era n'omukazi asasulenga bw'atyo bba. 4Kubanga omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula bba, era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we. 5Buli omu alemenga okumma munne, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe. 6Naye ekyo nkyogera mu ngeri ya kukkiriziganya, so siteeka tteeka. 7Naye nnandyagadde abantu bonna okubeeranga nga nze. Naye buli muntu alina ekirabo kye ye, ekiva eri Katonda, omulala kino, n'omulala kiri.#Mat 19:12
Abafumbo tebasaanye kwawukana
8Naye abatannafumbiriganwa ne bannamwandu mbagamba nti Kirungi bo okubeeranga nga nze. 9Naye oba nga tebayinza kweziyiza, bafumbirwenga: kubanga kye kirungi okufumbirwa okusinga okwakanga.#1 Tim 5:14 10Naye abaamala okufumbiriganwa mbalagira, so si nze wabula Mukama waffe, omukazi obutanobanga ku bba.#Mat 5:32 11naye singa anoba, abeereraawo obutafumbirwa, oba si bwe kityo atabaganenga ne bba; n'omusajja tagobanga mukazi we. 12Naye abalala mbagamba nze, si Mukama waffe, ow'oluganda yenna bw'abanga n'omukazi atakkiriza, omukazi nakkiriza okubeera naye, tamugobanga. 13N'omukazi bw'abeeranga ne bba atali mukkiriza, naye bba nakkiriza okubeera naye, tamunobangako. 14Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi we, n'omukazi atakkiriza atukuzibwa na bba, singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu.#Bar 11:16 15Naye atakkiriza bw'ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo ow'oluganda omusajja oba mukazi tali mu buddu mu bigambo ebiri bwe bityo, kubanga Katonda yatuyitira mirembe.#Bar 14:19 16Kubanga, ggwe omukazi, omanyi otya nga tolirokola balo? Oba, ggwe omusajja, omanyi otya nga tolirokola mukazi wo?#1 Peet 3:1 17Kino kyokka, buli muntu nga Mukama waffe bwe yamugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga bw'atyo. Ekyo ky'ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna.#1 Kol 7:20,24 18Omuntu yenna yayitibwa nga mukomole? Teyeggyangako bukomole bwe. Omuntu yenna yayitibwa nga si mukomole? Tanoonyanga kukomolebwa. 19Okukomolwa si kintu, n'obutakomolwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwatanga ebiragiro bya Katonda.#Bag 5:6; 6:15, Bar 2:25 20Buli muntu abeerenga mu kuyitibwa kwe yayitirwamu. 21Wayitibwa ng'oli muddu? Tokyeraliikiriranga, naye bwewabaawo omukisa ogw'okufuna eddembe, gukozese togufiirwa. 22Kubanga mu Mukama waffe eyayitibwanga muddu, aweebwa Mukama waffe eddembe, bw'atyo eyayitibwanga wa ddembe afuuka muddu wa Kristo.#Bef 6:6, Fir 1:16 23Mwagulibwa na muwendo; temufuukanga baddu b'abantu. 24Ab'oluganda, buli muntu abeerenga mu mbeera gye yalimu, agibeeremu wamu ne Katonda.
Obutafumbiriganwa si kiragiro kya Mukama waffe
25Naye ku bikwata ku butafumbiriganwa, sirina kiragiro kya Mukama waffe, naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa.#1 Tim 1:12,13 26Nze ndowooza nga ekirungi olw'okubonaabona okwa kaakano, omuntu okubeera nga bw'ali. 27Wasibibwa n'omukazi? Tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? Tonoonyanga mukazi. 28Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'emitawaana gy'ensi gye nnandyagadde mwewale.#Luk 21:23 29Naye kino kye njogera, ab'oluganda, nti Ebiro biyimpawadde, okuva kaakano abalina abakazi babe ng'abatalina:#Bar 13:11, Luk 14:26 30era n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba; n'abo abasanyuka babe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babe ng'abatalina; 31n'abo abakozesa eby'omu nsi babe ng'abatabikozesa, kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo.#1 Yok 2:15-17 32Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe; 33naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga mukazi we.#Luk 14:20, Bef 5:29 34Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo; naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga bba. 35Njogedde ekyo olw'okubagasa mmwe bennyini; si lwakuba nga kyambika, wabula olw'obulungi era mulyoke muweerezenga Mukama waffe obutategananga. 36Naye omusajja bw'alowoozanga nti taakole bulungi obutawasa omuwala gw'ayogereza, ate nga tayinza kweziyiza, akolenga nga bw'ayagala, bafumbiriganwe, aba tayonoonye. 37Naye oyo alina omutima omunywevu, n'asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa aba asazeewo bulungi. 38Kale oyo awasa omuwala gw'ayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa y'aba asinze okukola obulungi.
Nnamwandu akyayinza okufumbirwa nate
39Omukazi omufumbo asibibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw'ayagala, kyokka mu Mukama waffe.#Bar 7:2 40Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali, nga nze bwe ndowooza, era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda.
Currently Selected:
1 Abakkolinso 7: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: