YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso 4

4
Obutasukkanga ku byawandiikibwa
1Omuntu asaanidde atutwalenga ng'abaweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda.#Tit 1:7 2Era kigwanira abawanika okubanga abeesigwa.#Luk 12:42 3Naye gye ndi ekyo kintu kitono nnyo mmwe okunsalira omusango, oba omuntu yenna: era nange nzekka sseesalira musango. 4Kubanga sseemanyiiko kigambo; naye ekyo tekimpeesa butuukirivu: naye ansalira omusango ye Mukama waffe.#Zab 143:2 5Kale temusalanga musango gwa kigambo kyonna, ebiro nga tebinnatuuka, okutuusa Mukama waffe lw'alijja, alimulisa ebikwekebwa eby'omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw'omu mitima; buli muntu n'alyoka aweebwa ettendo lye eri Katonda.#1 Kol 3:8
6Naye ebyo, ab'oluganda, mbigeredde ku nze ne Apolo ku lwammwe; mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa; omuntu yenna alemenga okwegulumiza olw'omu okusinga omulala.#Bar 12:3 7Kubanga akwawula ye ani? Era olina ki ky'otaaweebwa? Naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng'ataaweebwa?#Bar 12:6 8Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe, era mubeera kufuga nnandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe.#Kub 3:17,21 9Kubanga ndowooza nga Katonda ffe abatume yatuteeka ku nkomerero ng'abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuuka ekyerolerwa eri ensi, eri ba bamalayika n'eri abantu. #Bar 8:36, Beb 10:33 10Ffe tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezigezi mu Kristo; ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe muli ba kitiibwa, ffe tuli ba kunyoomebwa.#1 Kol 3:18 11Era n'okutuusa ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tuba bwereere, era tukubibwa ebikonde, era tetuliiko waffe;#2 Kol 11:23-27 12era tukola emirimu nga tutegana n'emikono gyaffe, abatuvuma, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza;#Bik 18:3; 20:34, 1 Bas 2:9, 2 Bas 3:8, Bar 12:14, 1 Kol 9:15, Zab 109:28 13bwe tuwaayirizibwa, twegayirira; twafuuka ng'ebisasiro eby'ensi, empitambi eza byonna, okutuusa kaakano.
14Bino ssibiwandiika kubaswaza, wabula lwa kubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa. 15Kuba newakubadde nga mulina abayigiriza mitwalo mu Kristo, naye temulina bakitammwe bangi; kubanga nze n'afuuka kitammwe mu Kristo Yesu olw'Enjiri. #Bag 4:19 16Kyenva mbeegayirira mulabire ku nze. #1 Kol 11:1 17Kyenva ntuma Timoseewo gye muli ye mwana wange omwagalwa omwesigwa mu Mukama waffe, anaabajjukiza amakubo gange agali mu Kristo, nga bwe njigiriza yonna yonna mu buli kkanisa.#Bik 19:22, Baf 2:20 18Naye waliwo abalala abeegulumiza nga balowooza nga nze sigenda kujja gye muli. 19Naye ndijja gye muli mangu, Mukama waffe bw'alyagala; era ndimanya amaanyi gaabwe abeegulumiza so si mu bigambo obugambo. #Bik 18:21, Yak 4:15 20Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu bigambo bugambo, wabula mu maanyi.#1 Kol 2:4, Luk 17:20 21Mwagalako ki? Njije gye muli n'omuggo, oba mu kwagala ne mu mwoyo ogw'obuwombeefu?

Currently Selected:

1 Abakkolinso 4: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in