1
MATAYO 27:46
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Awo nga ku ssaawa ey'omwenda, Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eli, Eli, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
Compare
Explore MATAYO 27:46
2
MATAYO 27:51-52
Awo olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. Ensi n'ekankana, enjazi ne zaatika. Entaana ne zibikkuka, abatuukirivu bangi abaali bafudde ne bazuukira
Explore MATAYO 27:51-52
3
MATAYO 27:50
Awo Yesu n'akoowoola nate n'eddoboozi ery'omwanguka, n'afa.
Explore MATAYO 27:50
4
MATAYO 27:54
Omurooma omukulu w'ekibinja ky'abaserikale era n'abaserikale abaali naye nga bakuuma Yesu, bwe baalaba ensi bw'ekankana, era ne byonna ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Ddala ono abadde Mwana wa Katonda!”
Explore MATAYO 27:54
5
MATAYO 27:45
Okuva ku ssaawa mukaaga ez'emisana, okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, ekizikiza ne kibikka ensi yonna.
Explore MATAYO 27:45
6
MATAYO 27:22-23
Pilaato n'ababuuza nti: “Kale Yesu ayitibwa Kristo nnaamukola ntya?” Bonna ne baddamu nti: “Akomererwe ku musaalaba!” Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Akomererwe ku musaalaba!”
Explore MATAYO 27:22-23