Ebikolwa by'omubiri bimanyiddwa bulungi, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, okusinza ebitali Katonda, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, obutakkaanya, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebirala ebiri ng'ebyo. Ne kaakano nnyongera okubalabula, nga bwe nabalabula okusooka, nti abo abakola ebifaanana ng'ebyo, tebaliba na mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda.