Era ye omu oyo eyawa abamu okuba abatume, abalala okuba abalanzi, abalala okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, abalala okuba abasumba b'emyoyo, n'abalala okuba abayigiriza. Ekyo yakikola olw'okutendeka abantu ba Katonda mu mulimu gw'okuweereza, era n'okuzimba omubiri gwa Kristo, okutuusa ffenna lwe tulibeera n'okukkiriza okumu, n'okumanya Omwana wa Katonda, tube bakulu mu by'omwoyo, abatuukiridde mu bulamu bwa Kristo.