ne mmusaba ye oweekitiibwa ekingi, abajjuze mmwe amaanyi aga Mwoyo we, Kristo alyoke abeere mu mitima gyammwe, olw'okukkiriza kwe mulina. Mubeerere ddala mu kwagala, era mukunywereremu, mmwe awamu n'abantu ba Katonda bonna, musobole okutegeerera ddala obugazi, n'obuwanvu, n'obugulumivu, n'okukka wansi eby'okwagala kwa Kristo. Nsaba mumanye okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke mujjulire ddala Katonda.