1
ABEEFESO 2:10
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Katonda ye yatutonda ne tuba nga bwe tuli, twatonderwa mu Kristo Yesu, tukolenga ebikolwa ebirungi, Katonda bye yatuteekerateekera okukolanga.
Compare
Explore ABEEFESO 2:10
2
ABEEFESO 2:8-9
kubanga bwe mwakkiriza, mwalokolebwa lwa kisa kya Katonda. Okulokolebwa kwammwe tekwava ku mmwe, wabula kyali kirabo kya Katonda. Tekwava mu bikolwa byammwe ebirungi, waleme kubaawo yeenyumiriza.
Explore ABEEFESO 2:8-9
3
ABEEFESO 2:4-5
Kyokka Katonda ow'ekisa ekingi era atwagala ennyo, bwe twali nga tufiiridde mu bujeemu bwaffe, yatuzuukiza wamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa kya Katonda.
Explore ABEEFESO 2:4-5
4
ABEEFESO 2:6
Nga tuli mu Kristo Yesu, Katonda yatuzuukiza wamu naye, era n'atutuuza wamu ne Kristo oyo mu ggulu.
Explore ABEEFESO 2:6
5
ABEEFESO 2:19-20
N'olwekyo temukyali Bannamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n'abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. Mwazimbibwa ku musingi, be batume n'abalanzi, nga Kristo lye jjinja ekkulu ery'entabiro.
Explore ABEEFESO 2:19-20