Bwe yatuukayo, n'alaba nga Katonda bw'akwatiddwa abantu abo ekisa, n'asanyuka. N'abakubiriza bonna bamalirire mu mitima gyabwe okunywerera ku Mukama. Barunaba oyo, yali muntu mulungi, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu n'okukkiriza. Abantu bangi ne bakkiriza, ne basenga Mukama.