Newaakubadde ng'obulamu bwaffe obw'omubiri bugenda buseebengerera, naye obulamu bwaffe obw'omwoyo bufuulibwa buggya buli lunaku, kyetuva tulema okuddirira. Okubonaabona kuno okutono era okw'akaseera obuseera, kututeekerateekera ekitiibwa ekinene ekitaliggwaawo, era ekitageraageranyizika.