1
1 ABAKORINTO 8:6
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
naye tulina Katonda omu, Kitaffe eyatonda ebintu byonna, era nga naffe tubeerawo ku bubwe. Era waliwo Mukama omu yekka Yesu Kristo, byonna mwe byatonderwa, atubeesaawo.
Compare
Explore 1 ABAKORINTO 8:6
2
1 ABAKORINTO 8:1-2
Kale ebyo ebikwata ku kulya ebiweereddwayo eri ebitali Katonda, kituufu nti “Ffenna tutegeera.” Naye okutegeera kuleeta okwekulumbaza, wabula okwagala kwe kuzimba. Omuntu bw'alowooza nti alina ky'amanyi, aba tannamanya ngeri gy'asaanira kumanyamu.
Explore 1 ABAKORINTO 8:1-2
3
1 ABAKORINTO 8:13
Kale oba nga kye ndya kireetera muganda wange okugwa mu kibi, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nneme okuleetera muganda wange okugwa mu kibi.
Explore 1 ABAKORINTO 8:13
4
1 ABAKORINTO 8:9
Naye mwegendereze, eddembe lyammwe lireme okufuuka ekyesittaza abanafu.
Explore 1 ABAKORINTO 8:9