1
1 ABAKORINTO 7:5
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Abafumbo, buli omu alemenga kugaana munne, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubenga n'ebbanga ery'okwegayiririramu Katonda. Naye oluvannyuma muddiŋŋanenga, sikulwa nga Sitaani abakema olw'obuteefuga bwammwe.
Compare
Explore 1 ABAKORINTO 7:5
2
1 ABAKORINTO 7:3-4
Omusajja atuukirizenga ekimubanjibwa mu bufumbo, era n'omukazi akolenga bw'atyo. Omukazi si ye alina obuyinza ku mubiri gwe, wabula bba ye agulinako obuyinza. Bw'atyo n'omusajja si ye alina obuyinza ku mubiri gwe, wabula mukazi we ye agulinako obuyinza.
Explore 1 ABAKORINTO 7:3-4
3
1 ABAKORINTO 7:23
Mmwe yabagula omuwendo munene. N'olwekyo temufuukanga baddu ba bantu.
Explore 1 ABAKORINTO 7:23