1
1 ABAKORINTO 15:58
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
N'olwekyo baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu, era abatasagaasagana, mweyongerenga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe nga mukolera Mukama waffe, si kwa kufa bwereere.
Compare
Explore 1 ABAKORINTO 15:58
2
1 ABAKORINTO 15:57
Kyokka Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.
Explore 1 ABAKORINTO 15:57
3
1 ABAKORINTO 15:33
Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”
Explore 1 ABAKORINTO 15:33
4
1 ABAKORINTO 15:10
Naye olw'ekisa kya Katonda, kyenva mbeera nga bwe ndi kaakano, era ekisa kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Nakola nnyo okusinga abatume abalala bonna, naye si nze nakola, wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola.
Explore 1 ABAKORINTO 15:10
5
1 ABAKORINTO 15:55-56
“Ggwe Kufa, obuwanguzi bwo buluwa? Ggwe Kufa, obuyinza bwo obulumya buluwa?” Obuyinza bw'Okufa obulumya buva mu kibi, n'amaanyi g'ekibi gava mu mateeka.
Explore 1 ABAKORINTO 15:55-56
6
1 ABAKORINTO 15:51-52
Ka mbabuulire ekyama: si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey'enkomerero bw'erivuga, ffenna tulifuukira mu kaseera katono, ng'ak'okutemya n'okuzibula, kubanga eŋŋombe erivuga, n'abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa, era ffenna tulifuuka.
Explore 1 ABAKORINTO 15:51-52
7
1 ABAKORINTO 15:21-22
Kuba ng'okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n'okuzuukira kwaleetebwa muntu. Kuba ng'abantu bonna bwe bafa olw'Adamu, era bwe batyo bonna balifuuka balamu olwa Kristo
Explore 1 ABAKORINTO 15:21-22
8
1 ABAKORINTO 15:53
Kubanga omubiri guno oguvunda, gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri ogufa, gwa kufuuka ogutafa.
Explore 1 ABAKORINTO 15:53
9
1 ABAKORINTO 15:25-26
kubanga Kristo ateekwa okufuga okutuusa lw'alirinnyirira abalabe be bonna. Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa, ye Kufa
Explore 1 ABAKORINTO 15:25-26