1
Abaruumi 6:23
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Compare
Explore Abaruumi 6:23
2
Abaruumi 6:14
Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa.
Explore Abaruumi 6:14
3
Abaruumi 6:4
Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.
Explore Abaruumi 6:4
4
Abaruumi 6:13
so temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza obutuukirivu eri Katonda.
Explore Abaruumi 6:13
5
Abaruumi 6:6
bwe tumanya kino ng'omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guggibwewo, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi
Explore Abaruumi 6:6
6
Abaruumi 6:11
Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
Explore Abaruumi 6:11
7
Abaruumi 6:1-2
Kale tunaayogera tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga? Kitalo. Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?
Explore Abaruumi 6:1-2
8
Abaruumi 6:16
Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu b'okuwulira, muli baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ab'okuwulira okuleeta obutuukirivu?
Explore Abaruumi 6:16
9
Abaruumi 6:17-18
Naye Katonda yeebale, kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye mwawulira mu mutima engeri eyo ey'okuyigirizibwa gye mwaweebwa; kale bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu b'obutuukirivu.
Explore Abaruumi 6:17-18
Home
Bible
Plans
Videos