1
Abaruumi 5:8
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira.
Compare
Explore Abaruumi 5:8
2
Abaruumi 5:5
nate okusuubira tekukwasa nsonyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, ku bw'Omwoyo Omutukuvu gwe twaweebwa.
Explore Abaruumi 5:5
3
Abaruumi 5:3-4
So si ekyo kyokka, era naye twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi ng'okubonaabona kuleeta okugumiikiriza; nate okugumiikiriza kuleeta okukemebwa; nate okukemebwa kuleeta okusuubira
Explore Abaruumi 5:3-4
4
Abaruumi 5:1-2
Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tubeerenga n'emirembe eri Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo. era eyatuweesa olw'okukkiriza okutuuka mu kisa kino kye tuyimiriddemu; era twenyumirizenga olw'okusuubira ekitiibwa kya Katonda.
Explore Abaruumi 5:1-2
5
Abaruumi 5:6
Kubanga bwe twali nga tukyali banafu, mu ntuuko ze Kristo yafiirira abatatya Katonda.
Explore Abaruumi 5:6
6
Abaruumi 5:9
Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw'omusaayi gwe, tugenda kulokoka mu busungu ku bubwe.
Explore Abaruumi 5:9
7
Abaruumi 5:19
Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omu oli abangi bwe baafuuka ababi, bwe kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omu abangi balifuuka abatuukirivu.
Explore Abaruumi 5:19
8
Abaruumi 5:11
so si ekyo kyokka, era naye nga twenyumiririza mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atuweesezza kaakano okutabagana.
Explore Abaruumi 5:11
Home
Bible
Plans
Videos