Katonda kyeyava abawaayo eri okukwatibwa okw'ensonyi: kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kya buzaaliranwa: era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era nga baweebwanga mu bo bokka empeera eyo eyasaanira okwonoona kwabwe.
Era nga bwe batakkiriza kubeera ne Katonda mu magezi gaabwe, Katonda yabawaayo eri omwoyo ogutakkirizibwa, okukolanga ebitasaana